• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kabaka Foundation etongozza enkola ya Tubeere Balamu, Beene alagidde abantu be okujjumbira eby’obulamu

Gambuuze by Gambuuze
October 30, 2024
in Amawulire
0 0
0
Kabaka Foundation etongozza enkola ya Tubeere Balamu, Beene alagidde abantu be okujjumbira eby’obulamu
0
SHARES
42
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo ne Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be wonna mu Buganda okujjumbira enteekateeka z’obulamu ezibaleeteddwa basobole okulaakulana kubanga omuntu omulamu yasobola okukola obulungi.

Omutanda, obubaka buno  abutisse  Omumbejja Sarah Kagere  naabusomera abantu be mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu  ku mukolo ekitongole ki Kabaka Foundation kwe kitongolezza  enteekateeka ya ‘Tubeere Balamu Campaign’ egenda okumalira ddala emyaka esatu miramba era ebune mu masaza gonna.

“Mu nteekateeka z’okulwanyisa obulwadde bwa Kkookolo zetwalina mu Bulange nga 1, 03, 2024 kyazuulwa nti abantu baffe bangi balwadde ddala. Abalwadde  bano tebalina busobozi bwa nsimbi  okusobola okwetuusaako obujjanjabi mu bujjuvu so nga amalwaliro n’ebifo abantu webasobola okufuna obujjanjabi n’okukeberebwa bitono ddala,” Bwatyo Nnyinimu bw’ategeezezza.

Beene agamba nti olw’embeera eno ekitongole ki Kabaka Foundation kikoze enteekateeka okusembereza abantu obujjanjabi mu masaza gabwe gyebawangaalira okuyita mu nsiisira z’ebyobulamu era wano akunze abantu be okuvaayo mu bungi basobole okufuna obujjanjabi.

Olusiisira olusooka lwakuyindira ku mbuga ya Ppookino mu Buddu mu Desemba 2024 era lwakumala ennaku bbiri nnamba nga eno abaayo bakwekebeza Mukenenya, Nnalubiri, Kkookolo, Puleesa, ssukaali n’endala nnyingi.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick  Luwaga Mugumbule  ng’ono  akikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agambye nti kaweefube ono ajjidde mu kiseera kituufu ng’ebyobulamu byeggwanga byetaaga okutumbula.

Owek. Mugumbule ategeezezza nti bangi ku bantu b’Omutanda balina endwadde naye tebalina  busobozi kufuna bujjanjabi nga bwekityo bangi bakukozesa omukisa guno okutereeza omulamuzi buno.

Ssaabawolereeza w’Obwakabaka era bboodi memba wa Kabaka Foundation, Owek. Christopher Bwanika yeebazizza abavujirizi okukwatizaaako   Kabaka ku kaweefube ono.

Minisita w’Ebyobulamu mu Bwakabaka, Owek Nakate kikomeko ategeezezza nti kaweefube wakuyambako okutumbula ebyobulamu by’eggwanga

Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala agambye omulimu munene nga gwakuwementa ensimbi ezisoba mu kawumbi kamu n’obukadde 900 nga akunze abavujirizi okwongera okutumbula eby’obulamu nga bayita mukitongole ki Kabaka Foundation.

Supreme Mufti Sheikh Shaban Galabuzi agambye ebyobulamu byetaaga kukwatibwa kitole era  asabye gavumenti eyawakati okukwatagana n’Obwakabaka batumbule ebyobulamu.

Omukolo guno gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo, abavujjirizi era bangi beesunze omukisa guno ogubaweereddwawo Beene.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.