Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi adduukiridde abantu abakoseddwa ekirwadde kya Coronavirus n’ebintu ebibalirirwamu obukadde 100.
Bwabadde akwasa ebintu bino omubadde sabbuuni, tanka z’amazzi aganaaba mu ngalo, ebikozesebwa abasawo, akawunga n’ebirala, Ssabaminisita wa Uganda Dr Livingstone Ruhakana Rugunda, Omulangira David Kintu Wasajja, ategeezezza nti Kabaka ali wamu n’abantu be mu mbeera eyakazigizigi.
“Tusuubira bwetukwasaganyiza awamu, tujja kusobola okulwanyisa obulwadde buno. Ssaabasajja atukubirizza okugondera ebiragiro bya gavumenti okulwanyisa ekirwadde kino naddala obuyonjo,” Wasajja bwagambye.
Agambye nti eno yeentaandikwa bajja kugenda mu maaso ng’abakwatizaako gavumenti okulaba nti ekirwadde kino kituulwa ku nfeete.