Bya Ssemakula John
Butoolo – Mawokota
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye n’azimbira abantu abeetaaga okubeerwa mu ssaza ly’e Mawokota amayumba okusobola okutumbula embeera zaabwe nabo basobole okubeera mu bulamu obweyagaza.
Olwaleero ku Lwokusatu, Katikkiro Charles Peter Mayiga agenze mu ssaza ly’e Mawokota n’akwasa Nnamukadde Josephine Nabweggamo ow’emyaka 72 ku kyalo Kawala n’omukyala Namaganda Margaret ow’emyaka 49, enju zaabwe.
Enteekateeka eno ewagiddwa Obwakabaka ne bannamikago okuli; Habitat for Humanity awamu ne Rainbow International School.
“Embeera y’enju omuntu mw’asula ekola kinene nnyo ku bulamu bwe era kizibu okusuubira omuntu asula obubi okulowooza nti ayinza okuba n’amaanyi agasobola okulima emmere oba okulunda ebisolo. Era asula obubi talina busobozi kwejjanjabya wadde okuweerera abaana.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga ategeezezza nti Beene ayagala embeera z’abantu be zisosoowazibwe kuba Buganda tesobola kudda ku ntikko ng’abantu be basula bubi.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti olwokuba Ssaabasajja ayagala okulaba abantu be nga bali mu mbeera ennungi, y’ensonga lwaki yatandikawo kaweefube w’okuzimbira abantu be ennyumba. Bw’atyo abasabye okukuuma ennyumba zino era beekuume nga bayonjo okusobola okwegobako endwadde.
Nakiganda ne Nabweggamo beebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubalowoozaako n’abawonya empewo n’okusulanga ebweru era ne beeyama okukuuma obulungi ennyumba zino ezibaweereddwa.
Omubaka w’ekitundu, Hillary Kiyaga yeebazizza Kabaka n’ategeeza nti kano kabonero kalungi era akalaga engeri Omutanda gy’akoze buli kimu okusitula embeera z’abantu be.
Ku mukolo guno, Katikkiro Mayiga awerekeddwako Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Hajji Amis Kakomo, abakungu mu Bwakabaka awamu n’ abakungu okuva mu Habitat for Humanity.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka yasiima okubaako abantu abeetaaga okubeerwa b’azimbira amayumba buli mwaka ng’ayita mu Bwakabaka awamu ne bannamikago ba Habitat for Humanity awamu n’aba Rainbow International School era abantu abawerako baganyuddwa mu nteekateeka eno.