Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye obumu obwoleseddwa Obuganda mu mwaka 2019, n’asaba bweyongere ne mu mwaka 2020.
Mu bubaka bwe bwatisse Omumyuka wa Katikkiro asooka era avunanyizibwa ku by’emirimu, Oweek. Pulofeesa Twaha Kigongo Kawaase, Kabaka ayagalizza Obuganda Ssekukkulu ennungi n’omwaka omujja ogujjudde ebibala n’essanyu. Ku lulwe, Kawaase ategeezezza nti Buganda ekolebwa Obuganda obw’enjawulo, mu ddiini, ebika, ebibiina by’eby’obufuzi n’amawanga.
“Tulina akaganda ka Basiraamu, Akabalokole, akaganda kaba Kulisitaayo, akaganda ak’abakatuliki. Wasiimye olunaku olwaleero Abalokole be baba beegazanyiza mu mbugayo eno,” Kawaase bwagambye.
Agasseeko nti kijja kuba kizibu okutwala Buganda ku ntikko singa wabaawo okweyawulayawula. “N’Abalokole mu kkubo ery’obumu n’osiima bajje bayimbe ennyimba zino era bakulemberemu okusaba. Era mu kkubo ery’obumu, n’osiima nti buli mukolo gwo kw’olabikira tufune nga eddiini ez’enjawulo zisabire emikolo egyo. Obumu obwo bwebututambuzza okuva mu Gatonnya 2019, okutuuka kati Ntenvu 20. Era bwebututaambuzza okuva lwewatuula ku Namulondo okutuuka kati. Bwebugenda okututambuza nga tuli mu kkubo eritwala Buganda ku ntikko,”Kawaase bwagambye.
Yeebazizza Katonda akuumye Ssaabasajja Kabaka nga mulamu wamu n’okumuvvunusa ebizibu ebingi. Asiimye nnyo ne Bannaddiini olw’okusabiranga Obuganda entakera okusobola okuvvuunuka ebizibu bino.
Omukolo gwetabiddwako abantu bangi omubadde Maama Nnaabagereka, Abalangira n’abambejja ssaako ne Bannaddiini okuva mu nzikiriza ya Balokole. Bano basabidde Kabaka, Obuganda wamu ne Uganda okubukalamu emirembe n’essanyu, naddala nga twolekera okulonda kwa bonna okwa 2020.