Musasi waffe
Gavumenti ya Uganda ewadde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II omudaali okumusiima olw’okutakabanira okutumbula embeera z’abantu n’emirembe muggwanga.
Mungeri yemu, Ssekabaka Edward Muteesa II naye yaweereddwa omudaali olw’okulwanirira Uganda okufuna obwetwaze ku mukolo ogw’okujjukira nga bwegiweze emyaka 50 bukya Ssekabaka Muteesa II akisa mukono. Omukolo gubadde ku Sheraton Kampala Hotel.
Gavumenti yeetemye okuddiza Buganda emmotoka Ssekabaka Muteesa II mweyatambuliranga ey’ekika kya Rolls Royce ekuumibwa mu Uganda Museum mu kiseera kino. Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye abantu ba Uganda ku buli mutendera okunyweza obumu kisobozese okutwala enkulaakulana mu maaso.
Ku mukolo gwegumu, Pulezident Museveni awaddeyo obukadde 300 ziyambeko mu kumaliriza omulimu gw’okuddaabiriza Amasiro g’e Kasubi.