• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kabaka Atukoze Bulungi mu Byobulamu n’Ebyenjigiriza

Gambuuze by Gambuuze
November 18, 2025
in Amawulire
0 0
0
Kabaka Atukoze Bulungi mu Byobulamu n’Ebyenjigiriza
0
SHARES
250
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Frobisher Mujuzi

Mmengo – Kyaddondo

Tweyanza Ssaabasajja Kabaka, olw’okubeera omusaale mu kutumbula ebyenjigiriza n’ebyobulamu mu Ggwanga lyaffe.

Leero abantu ba Buganda okuva mu ggombolola Kampala Masekati; Kyampisi Kyagwe; ne Kyanamukaaka Ssaabagabo; omuli ne Minista wa Kampala, Minsa Kabanda, Lord Meeya Erias Lukwago n’akulira ekitongole kya KCCA Muky. Sharifah Buzeki, bakiise embuga mu nkola y’oluwalo era baleese ensimbi ezisoba mu bukadde 60.

Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, akiikiridde Katikkiro mu kutikula oluwalo, yebaziza abantu okujjumbira oluwalo, ky’agambye nti kizzaamu amaanyi nti emirimu gy’Obwakabaka gijja kwongera okutambula.

Minisita Nakate yebazizza abazadde, okuteekateka abaana okutuula P.7 ne s4 kyokka n’awabula nti ebibalo biraga abaana ebitundu 39 ku buli kikumi bokka be beyongerayo ku mutendera ogwa siniya ky’agambye nti kitiisa nnyo kubanga kiraga nti baana bawanduka mu masomero nga tebamazeeko, bwatyo abakubirizza abazadde okufuba ku albaana bamalirize emisomo. Asabye n’abazadde obutakoowa ku baana, bababeeere kumpi, mu luwummula luno oluwanvu obutabeera mu bitabagasa.

Minisita Nakate awadde eddoobozi ku mbeera y’ebyobufuzi eriwo; “tuleme kukozesa bigambo bibi, na kuyuza bifaananyi bya bannaffe, wabula twagala okulaba okulonda okulimu obumu n’obwagazi eri ensi yaffe, Uganda!”.

Abakulembeze, ab’enjawulo mu bubaka bwabwe beeyanzizza Maasomoogi olw’okukulemberamu obuteerevu enteekateka z’ebyobulamu n’ebyenjigiriza nga bagamba singa si ye, abantu n’abakulembeze mu kibuga kya Kampala bandibadde ku buzito bwa maanyi okutuusa ku bantu obuweereza obujjuvu.

Omumyuka wa Ssebwana Kayongo Vincent akulembeddemu abakiise Embuga yebazizza abantu ba beene olw’okukiika embuga n’abakuutira okwegendereza ebiseera by’ebyobufuzi obutabiganya kubawulayawula banywerere ku Kabaka era batunuulire ekiruubirirwa ekikulu eky’okuzza Buganda ku ntikko.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist