Bya Gerald Mulindwa
Kampala
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye n’atongozza Sitampu entongole ey’amazaalibwa ge ag’e 65 ekoleddwa aba Posta Uganda, mu kaweefube w’okutumbula n’okubunyisa ekifaananyi kya Buganda okusukka ensalo za Uganda.
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, asinzidde ku mukolo guno ogubadde mu Lubiri e Mmengo n’addamu okukulisa Nnamuswa amazaalibwa ge. Agambye nti, amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka tekubeera kubala myaka Kabaka gy’abeera awezezza.
“Amazaalibwa ga Kabaka guba mulembe era nga buli mulembe Abaganda baliko okuva edda n’edda bye bagujjukirako. Buli lwe tukuza amazaalibwa ga Kabaka tujjukira omulembe Omutebi, Obwakabaka lwe bwaddawo,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Mayiga agambye nti amazaalibwa ga Kabaka nsonga nkulu nnyo si eri Kabaka yekka naye n’abantu abali mu Buganda. Ono yeebazizza aba Posta Uganda olw’okukola Sitampu zino era n’asiima enkolagana ennungi eriwo wakati w’ekitongole n’Obwakabaka okuviira ddala ku Mirembe Emicwa.
Kamalabyonna akubiriza Abaganda okukozesa Posta okutambuza ebintu byabwe era n’abasaba okugula Sitampu za Posta eziriko ekifaananyi kya Ssaabasajja Kabaka, kiyambe okutumbula n’okutunda ekifaananyi kya Buganda okusukka ensalo.
Katikkiro Mayiga ategeezezza Ssaabasajja nti, aba Posta beeyamye kulongoosa Posta ye Mmengo nga bateeka obujjo mu luggya nn’okusiiga ekizimbe ekirilaanye Bulange okusobola okulaga ekifananyi ekirungi.
Ssenkulu wa Majestic Brands, Omuk. Ronald Kawaddwa, ategeezezza nti Sitampu zino zigenda kukozesebwa abantu okuweereza ebitereke mu Uganda n’ebweru waayo nga ezikoleddwa ziwera emitwalo 20 era bwezinagulwa kyakuyamba Obwakabaka okuyingiza ensimbi.
“ Ssaabasajja Kabaka Sitampu ezo ziri mu mitendera esatu nga waliwo eya ssiringi lukumi, eya ssiringi 5000 ne ssiringi omutwalo ogumu, Ayi Ssaabasajja Kabaka,” Omuk. Kawaddwa bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti Sitampu zino zaakutundibwa mu matundiro ag’enjawulo ag’abasajja ba Kabaka ababunye buli wamu era n’asuubiza okukola ekisoboka okuziranga abantu basobole okumanya webazigula.
Ssenkulu wa Posta Uganda, Fred Kasoma, yeebazizza Omuteregga olw’okusembeza ekitongole kya Posta Uganda era nga kino kyeyolekera mu Sitampu zebaze bakola okuli eya Ssekabaka Muteesa II awamu ne Sitampu y’Omumbejja Sangalyambogo ezaabuna ensi yonna.