Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga, Bakatikkiro abaawummula okuli; Oweek. Joseph Mulwannyamuli Ssemwogerere, Oweek. Dan Muliika, Oweek. Eng. John Baptist Walusimbi, ne Professor Ssemakula Kiwanuka okwogeramu ku nsonga enkulu ez’obusika bwa ba Namasole mu Buganda.
Bwabadde ayogerako eri ab’amawulire ku byogeddwako mu nsisinkano eno, Katikkiro ategeezezza nti, Waaliwo endooliito kubwa Namasole obwe Kanyanya wakati wa Namasole eyatuuzibwa Mangadalen Ndibalekera ne Namasole Nandawula.
Ssaabasajja ensonga zino ayagala zittaanyizibwe bulungi.
Eno y’ensonga lwaki Beene yayise Katikkiro Mayiga ne ba Katikkiro abaawummula wamu ne Professor Ssemakula Kiwanuka bamutegeeze kyebazimanyiko era zigonjoolwe ddala awatali kuddamu kuwulira ndooliito zonna.
Katikkiro Mayiga agambye nti obwa Namasole nsonga nkulu nnyo mu Buganda kubanga azaala Kabaka era obwa Namasole busikirwa olwo ekifo ky’obwa Namasole nekisigala nga kyeyongerayo.
Obwa Namasole obwe Kanyanya bwakumpi kubanga Namasole Maaso Mbira yazaala Ssekabaka Daudi Chwa.
Agambye nti boogedde ne ku nsonga z’obusika obw’abantu abakulu mu bwakabaka naddala obusika obutambulira mu nsikirano.
“Ssaabasajja antumye okubategeeza ensonga zino; zaatandikako dda naye olaba zanjulwa ewa Kabaka ng’omanya tusemberera okuzitereereza ddala,” Mayiga bwagambye.