![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/WhatsApp-Image-2020-01-09-at-4.29.29-PM-1024x683.jpeg)
Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nnyo minisitule y’ebyemizannyo e Mmengo olw’omutindo ogwa waggulu gwetegekerako empaka z’emipiira gy’amasaza. Bwabadde ku mukolo ogw’okuyozaayoza tiimu y’essaza lye Bulemeezi olw’okuwangula ekikopo ky’emipiira gy’amasaza egya 2019, e Bamunaanika ku kisaawe, Omutanda agambye nti emipiira gino gigenda kukozesebwa ng’erimu ku makubo ag’okugatta abantu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/WhatsApp-Image-2020-01-09-at-4.29.33-PM-1024x683.jpeg)
“Twebaza ekitongole ky’e Mmengo ekivunanyizibwa ku mizannyo olw’entegeka y’emipiira ennungi. Twebaza abazannyi, abakulembeze ba tiimu, abakulembeze b’essaza n’abo bonna abaakwatira ku tiimu y’essaza. Obuwanguzi bwemwatuukako fenna tubwenyumirizaamu era tusanyuka nnyo okulaba nga buli mwaka omutindo gw’empaka zino gweyongera bweyongezi,” Kabaka bwagambye.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/WhatsApp-Image-2020-01-09-at-4.29.38-PM-1024x683.jpeg)
Agasseeko nti empaka zino bazitunuulira ng’erimu ku makubo ag’okugatta abantu, n’olwekyo n’asaba abazannyi ettutumu lye bafuna balikozese okutuusa obubaka ku nsonga enkulu ez’obulamu bw’abantu omuli n’okulwanyisa obulwadde bwa siriimu mu bavubuka. Kabaka era ayozaayozezza amassaza gonna agaavuganya mu mpaka za 2019. Yeebazizza nnyo eb’eBulemeezi olw’okutuuka ku buwanguzi mu mpaka zayayogeddeko nti zaalimu okuvuganya okwamannyi.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/WhatsApp-Image-2020-01-09-at-4.29.39-PM-1024x683.jpeg)
Ku mukolo gwegumu, Katikkiro Charles Peter Mayiga, asiimye nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okukkiriza n’agabula banna Bulemeezi ekijjulo olw’okuwangula ekikopo. “Okuva empaka lwezaatandika mu 1964, ate n’okuva lwe zazzibwawo mu 2004, wabadde tewannabaawo mulundi Omuteregga lweyagabula essaza eriba liwangudde muyogeeyoge,” Mayiga bwagambye. Asabye ab’eBulemeezi okukuuma ennyo Namulondo kubanga mu ssaza lyabwe Kabaka alinamu Olubiri wamu n’ettaka. “Aba Nkuluze bwebabayita nti muggye mutereeze obusenze bwammwe ku ttaka nga musitukiramu kubanga Kabaka mubeera naye, ye Nnamunswa,” Mayiga bwagambye. Ayongeddeko nti newankubadde banna Bulemeezi bawanguzi era babasanyukirako, wabula balina okulaga nti bbo Kabaka baasiimye mungeri ey’enjawulo si baakuzannya. “Kijja kuba kya kitiibwa nga muzzeemu okusitukira mukikopo kino 2020, era bwetunaategeera nti okuwangula mu 2019 terwali lukisakisa,” Mayiga bwagambye. Katikkiro era ategeezezza nti obuwanguzi mu mizannyo bwetaaga empisa mu bazannyi, abatendesi n’abakugu, abalamuzi, wamu n’abaguddukanya. “Bwemunaabinyweza osanga ne kuluno mu naawangula.”
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/WhatsApp-Image-2020-01-09-at-4.29.31-PM-1024x683.jpeg)
Atwala essaza lino Kkangaawo, Ronald Mulondo yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima Bulemeezi okubeera essaza erisoose mu byafaayo okusiimibwa olw’okuwangula ekikopo ekya masaza. “Tukusuubiza Beene nti abamasaza amalala enaaba ntaanya okututwalako ekikopo. Tukusuubiza okukikuuma ebbanga lyonna,” Mulondo bwagambye. Bulemeezi yakuba Busiro ggoolo 1:0 mu mpaka ez’akamalirizo ezaali mu kisaawe maasogalikwoleka, e Namboole.