Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye enkya okw’ogerako eri eggwanga.
Okusinziira ku Minisita avunanyizibwa ku by’amawulire, Oweek. Noah Kiyimba, Kabaka wakusinziira mu Lubiri lw’e Mmengo.
Obubakabwe bwakuweerezebwa butereevu ku leediyo eya CBS ku mukutu 89.2.
Ssaabasajja kisuubirwa ajja kuwa obubakabwe obw’amazuukira ga Yesu Kulisito wamu n’amazaalibwage agagenda okubaawo ku Mmande nga Apuli 13.
Naye okwawukanako nga bulijjo, Omwaka guno amazaalibwa sigaakukuzibwa nga bulijjo olw’embeera eri mu ggwanga ey’ekirwadde kya Coronavirus ekyaviirako omukulembe w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuwa ebiragiro eby’enjawulo omuli n’okulagira abantu okusigale ewaka.