
Musasi waffe
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwaleero asiimye okulabikako eri Obuganda okwetaba ku mikolo gy’ennyimba z’amazaalibwa ga Yesu Kulisito egigenda okubeera mu bimuli bya Bulange. Beene asuubirwa okutuuka ku Bulange ku ssaawa 11 ez’akawungeezi era nga wakwanirizibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Katikkiro ye asuubirwa okutuuka kussaawa kkumi n’ekitundu. Abagoberezi ba Kulisito Abalokole bebasuubirwa okukuliramu ennyimba zino. Omukolo gugenda kutandika kussaawa Munaana, n’okutuuka kw’abaweereza bonna okuva mu bitongole by’Obwakabaka byonna. Kkwaya ez’enjawulo omuli, Calvary Cross Choir, African Children’s’ choir, Jehovah Shalom Choir, Light of the World Choir, Kansanga Miracle Mass Choir, Choir Y’abaweereza, Mwangaza Children’s Choir wamu ne Watoto Choir zezigenda okuyimba. N’omuyimbi Pastor Wilson Bugembe naye asuubirwa okuyimba. Abasumba babalokole ab’enjawulo basuubirwa okusabira Obuganda wamu ne Uganda eyamu. Mubano mulimu, Pastor John Mulinde, Omusumba Joshua Lwere, Ssonko Lameka, Ivan Kimera, Norah Namazzi, Pastor Joseph Sserwadda wamu n’omusumba Robert Kayanja. Ku mukolo guno era Katikkiro kw’agenda okugabira ebirabo eri abakozi b’Obwakabaka wamu ne kkwaya. Katikkiro era asuubirwa okukozesa omukolo guno okuwa obubakabwe obwa Ssekukkulu n’omwaka. Ssabasajja Kabaka asuubirwa okusala keeki okugabula Obuganda wamu n’okukoleeza omuti gwa Ssekukkulu okwagaliza abaweerezabe amazaalibwa ag’essanyu n’emirembe. Omukolo gusuubirwa okuggwa ku ssaawa 12:45.