Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okukuliza amazaalibwage ag’omulundi 65, ku Lutikko e Lubaga. Mu bubakabwe obwa Ssekukkulu bwattise Katikkiro Charles Peter Mayiga, mukusaba okubadde e Lubaga, nga kukulembeddwamu Ssaabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga, Omutanda asiimye emirimu gyonna egikoleddwa mu mwaka 2019 okuyimirizaawo gavumenti ye, wamu n’e gavumenti ya wakati.
“Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ajjakuweza emyaka 65 egy’obuto, lujja kuba lunaku oluddirira ppasika era Ssaabasajja asiimye okulukwatira wano ku Lutikko e Lubaga. Ssabasumba amawulire namazze dda okugamuteegeza era nsubulira munajja Lutikko eno n’ejjula n’ebooga nga twebaza Katonda olw’obulamu bwawadde Kabaka waffe,” bwatyo Kabaka bwategeezezza mu bubabaka bwe obwetikiddwa Katikkiro Mayiga. Omutanda era ayagalizza Bannayuganda bonna omwaka 2020 ogujjudde ebibala. Ku lulwe, Mayiga avumiridde nnyo enguzi ekudde ejjembe mu Uganda n’asaba abagirya okukozesa amazaalibwa ga Yezu, okwezza obujja omuze guno bagute. Ku lulwe, Ssabasumba asabye gavumenti ng’eyita mu bitongole byayo okussa ekitiibwa mu ddembe ly’abantu. Avumiridde nnyo ebikolwa by’okutulungunya abantu n’agamba nti bizza eggwanga emabega.