Musasi yaffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda mu ssaza lye ery’e Bulemeezi mu nteekateeka y’okubeebaza olw’okuwangula ekikopo ky’emipiira gy’amasaza 2019. Nga ayogerako eri bannamawulire ku Bulange Mmengo, Oweek. Henry Sekabembe Kiberu, minisita avunanyizibwa ku by’emizannyo n’okwewumuzza, Kabaka wakulabikako ku lwokuna nga 09/01/2020 ku ssaawa ssatu ez’okumakya. Sekabembe ategeezezza nti enteekateeka eno yanjawulo era yabyafaayo kubanga ebadde tebangawo bukyanga mipiira gy’amasaza gitandika. “Ssaabasajja asiimye okusiima banna Bulemeezi bonna n’okusingira ddala olukiiko oluddukanya omupiira e Bulemeezi n’etiimu yonna oluvanyuma lw’okuwangula ekikopo 2019,” Sekabembe bwategeezezza. Akunze abantu ba Kabaka bonna mu Buganda ku ssaawa bbiri ez’okumakya okuba nga bakkalidde bulungi mu bifo byabwe ku kisaawe e Bamunaanika wabweru w’olubiri. “Mujje mufune obubaka bwonna era mubeewo nga nannyini nsi agabula Obuganda. Awaddeyo ente bbiri era zaamaze dda okutuuka e Bamunaanika,”Sekabembe bwagambye. Tiimu ya Bulemeezi okutuuka ku buwanguzi, yamala kukuba tiimu ya Busiro, ggoolo1:0.