Bya Fatuma Nakiwala Kivumbi
Nga ensi yonna yeetekerateekera okujaguza amazaalibwa ga Yeesu Kulisto abangi gyebayita Ssekukkulu, buli muntu ali mu keetalo ak’okulaba ng’afuna ebyassava.
Nga bweri enkola ya Nyinimu okugabula abaweereza be, olwaleero, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okugabula abantu be abakola omulimu ogw’okuzzaawo ennyumba Muzibu Azaala =Mmpanga mu Masiro ge Kasubi.
Ettu lya Ssekukkulu lino omubadde ente, nebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo lyetikkiddwa minisita avunaanyizibwa ku Buwangwa, Ennono, Obulambuzi, Amasiro, Embiri n’Ebyokwerinda, Owek. David Kyewalabye Male.
Okusinziira ku minisita Kyewalabye, Ssemunywa yasiimye abantu be bano baddeko eka balabe ku bebaalekayo engeri gyekiri nti abali ku mulimu guno balina okubeera ku bwerinde awatali kwetaba mu bikolwa bya bufumbo okwewala okusobya ennono y’okuzimba Amasiro.
Minisita yasoose kulambula omulimu ogukolebwa mu masiro era akulira ebyekikugu Eng. Jonathan Nsubuga amwebazizza olw’okufaayo nabawa ebikozesebwa ekiyambyeko okwanguya omulimu guno nga mu kiseera kino omulyango gwa Bwanga gwaggwa dda nga kati obwanga babwolekezza wankaaki.
Minisita Kyewalabye asinzidde wano nategeeza nga omwaka 2020 wegunaagwerako nga eddimu lyebaliko eryokuzzaawo Muzibu Azaala Mpanga eyasaanyizibwawo abatamanya ngamba mu 2010, liwedde era gukwasibwe Ssaabasajja kubanga omulimu ogusinga okuba omunene kati gwakuttaanya.
Yeebazizza abaliko kyebakoze okulaba ng’amasiro gano gazzibwayo omuli Ssaabasajja Kabaka, Katikkiro Charles Peter Mayiga , gavumenti ya Uganda, Owek. Kaddu kiberu nabuli akola omulimu ogw’ekikugu n’obuwangwa ku masiro ge Kasubi.
Nampala womulimu guno owek Hajj Kaddu Kiberu yategeezezza nga bwebalina enteekateeka eyokwongera ku bakozi kibasobozese okwanguya omulimu guno.