Bya Musasi waffe

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye enkolagana eri wakati wa Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu n’eggwanga lya Kenya. Ku lw’enkolagana eno ennungi, Omutanda kweyasinzidde n’atuma Katikkiro we, Charles Peter Mayiga amukiikirire ku mukolo Bannakenya mu Uganda kwebaajagulizza eggwanga lyabwe okuweza emyaka 56 nga ly’efuga.

“Ssabasajja baamuyita era nandagira nzijje mbeerewo mukiikirire kubanga Bannakenya naffe tuli baaluganda era tufananya ebintu bingi. Emabegako awo Bannakenya bajja nebatukyalira mu Bulange nebakyalira ne Ssabasajja. Era mwalaba eyali Ssabaminisita Raila Odinga naye yakyalira Ssaabasajja,” Mayiga bweyategeezezza.

Yagasseeko nti Uganda ne Kenya tebakoma kuba baamulirwano kyokka, wabula basuubulagana wamu n’okulambulagana. “Bannakenya bajja nnyo okulambula mu Buganda era batuukako ku Bulange n’ebifo eby’enkizo bingi mu Buganda. Twagala okunyweza enkolagana eyo; kyekyandeese. Nabo basanyuse era Omubaka wa Kenya asanyuse nnyo nti Ssabasajja mukiikiridde,” Mayiga bweyagambye.

Kenya ekiikirirwa Kiema Kilonzo mu Uganda (Ambassador). Mayiga yabakulisizza nnyo olw’okutuuka ku meefuga gaabwe n’abaagaliza emirembe n’essanyu. Omukolo gwetabiddwako abantu bangi okuli ababaka b’amawanga amalala mu Uganda. Omugenyi omukulu yabadde Sam Kutesa, Minisita wa Uganda avunanyizibwa ku nsonga z’ebweru.