Bya Stephen Kulubasi
Lubiri- Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, asiimye emirimu egikoleddwa omusiige Teddy Nakajja eyaziikiddwa olunaku lw’eggulo, oluvannyuma lw’okufuna akabenje omusaayi ne gwetukutira mu kamu ku busiwa obutono obw’oku mutwe.
Bwe yabadde ayogera ku bulamu bw’omugenzi, Omutanda yamusiimye olw’okulera n’okwagala Abaana b’Eng’oma era ow’empisa, omukozi era omuwulize ate omwesigwa.
Beene yasinzidde wano n’agamba nti obulamu bw’omugenzi ono bulaga nti ne ku mulembe guno, abavubuka abaagala Obwakabaka ne beewaayo okubuweereza basobolera ddala okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe n’okwekulaakulanya.
Omuteregga yasiimye abasiige n’abaweereza b’Obwakabaka bwa Buganda abaatandika obuweereza nga bakyali bato naddala abo abeegatta ku Bwakabaka nga bwakazzibwawo. Nnyininsi era yasiimye abakulu b’ebika n’abazadde b’abasiige, abafubye okutuukiriza akalombolombo k’okusiiga abaana mu Lubiri newankubadde ng’embeera y’ennaku zino esoomooza.
Omugenzi Teddy Nakajja abadde yeddira Nvuma. Ono yasiigibwa Omutaka Kyaddondo mu mwaka gwa 1993 ng’alina emyaka mwenda 9. Yasomera era n’akuzibwa mu Lubiri. Oluvannyuma lw’okusoma, Obwakabaka bwamulonda okukola omulimu gw’okwaniriza abagenyi n’abatongole mu Lubiri. Oluvannyuma yasuumusibwa n’aweebwa omulimu gw’okusunsula n’okutegeka ebiwandiiko (Archivist) era w’afiiridde nga ye muwandiisi wa woofiisi y’omu Lubiri.
Teddy Nakajja yafa ku lunaku Lwakusatu ng’obuzibu bwava ku kasuwa akaazibikira ( blood clot) nga kino kyaddiridde okufuna akabenje Ssabbiiti ewedde, bwe yabadde atwala omwana we mu ddwaliro.