![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/03/Unaids-2-scaled.jpg)
Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’asazaamu okulambula kwe mu ggombolola y’e Kakuuto mu disitulikiti y’e Kyotera.
Kabaka abadde wa kulambula bitundu bino ku Lwokuna okutuuka ku Lwokutaano wiiki eno.
Okusazaamu kuno kuddiridde ekirwadde kya senyiga amanyiddwa nga Corona virus okusaasanira ebitundu byensi eby’enjawulo kati nga kiri Tanzania.
Ng’ayogerako ne bannamawulire mu Bulange e Mmengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti Omutanda abadde amaze ebbanga ggwanvu nnyo nga talambula ku bantu be n’asiima agende abalambule era ng’enteekateeka zibadde zikoleddwa zamanyi olw’okulambula kuno.
“Naye nga bwemumanyi, ensi erimu ekirwadde kya Corona virus, obuyita mu bbanga okukwata omuntu era ekibiina kya mawanga amagatte nga kiyita mu kitongole kyakyo ekikola ku by’obulamu ne minisitule y’oby’obulamu batubagulizzaako okw’ebyo byetuteekeddwa okukola okwewala okukwatibwa obulwadde buno. Baatugambye okwewala abantu abangi,”Mayiga bwagambye.
Agasseeko nti buli Ssaabasajja Kabaka lwalambula, abantu bakungaana bangi nnyo ate olw’okuba bakungaanira mu kifo awayinza okubeera obuzibu okumanya ani ayingira n’afuluma, kyetaagisa okwongerayo okulambula kuno.
“Ssabasajja Kabaka asiimye abantube ab’e Kakuuto ajja kubalambula olula. Okulambula kw’omulundi guno kuyimirire tumale okwetegereza embeera y’obulamu nga bweri,” Mayiga bwagambye.
Yeebazizza nnyo abo bonna abakoze enteekateeka y’okwaniriza Omutanda, n’abasaba babe bagumiinkiriza Ssaabasajja Kabaka ajja kudda abalambule omulundi omulala nga bamaze okwetegereza embeera ng’eteredde.