![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/10/Katikkiro-1.jpeg)
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi agambye nti Buganda ejja kusobola okuba enywevu singa abaana bava buto nga bayigirizibwa ebikwata ku ggwanga, empisa n’ebika byabwe. Mu bubaka bwatisse omulangira Kassim Nakibinge mu kuggalawo omusomo gw’ennono n’obuwangwa ogutegekebwa Bajjaja Abataka Abakulu b’obusolya, Kabaka yagambye nti eggwanga lyonna okukula lirina okussa ekitiibwa mu buwangwa bwalyo. “Empisa zaffe zituyamba nnyo okuzimba obumu, okwekkiririzaamu awamu n’obukulembeze obulungi. Bwolondoola obulungi abakulembeze batawuliriza nsonga zaabo bebakulembera, abawamba ebintu byabalala, n’okunyigiriza abantu, oyinza okukizuula nti ekyo kisibuka mu maka gyebaakulira,” Kabaka bwagambye. Yagaseeko nti okusobola okunyweza essuubi lya Buganda ey’enkya, essira liteekeddwa okussibbwa mukunyweza amaka nga abazadde balina omukwano wamu n’enkolagana esobozesa abaana okweyisa obulungi. “Eno yentandikwa ey’okugunjula abaana abataabe nansonyi kwogera nti basibuka mu Buganda era Baganda. Okwegaana n’okuvuma amawanga abantu mwebasibuka, kivuddeko abantu bangi obuteeguya n’okukola ebikolobero ku bannaabwe, kyetuva tukubiriza abantu ba Uganda nawalala wonna okwenyumiriza mu nsibuko yaabwe. Kino kisoboka singa abantu bava mu maka amalungi era nebakuzibwa bulungi,” Kabaka bweyategeezeza. Omutanda era
yakubirizza abavubuka obutakwatibwa nsonyi wadde okujjibwa ku mulamwa ku nsonga enkulu ezizimba obwakabaka, ebika,
olulimi wamu n’empisa nagamba nti bino byebikola eggwanga.
Omuteregga era yakubirizza Abataka Abakulu ab’obusolya obutakoowa kukubiriza bazzukulu baabwe okwenywereza ku nnono n’ebika ate n’okubikulaakulanya.
“Tuddamu okukiggumiza nti essuubi lya Buganda bebavubuka, abavubuka abakuzibwa mu maka amalungi agalimu essanyu era agagoberera empisa n’ennono, abavubuka abayivu abaagala obwakabaka bwabwe era abatalina nsonyi kwatula nti balina Ebika mwebasibuka era nebagoberera empisa n’obukulembeze bwa Buganda.”
Mu kwogera kwe, Omulangira Nakibinge yasabye Bajjaja Abataka okukunga bazzukulu baabwe okwenyigira mu bukulembeze ku buli mutendera era babawagire mu lwatu oba mu kyama. Yayongeddeko nti era kisaanye Abataka okukubiriza abazzukulu okwenyigira mu buli mulimu gwonna ogusobola okuleeta ensimbi basobole okwetakkuluzaako nnabe w’obwavu. Nakibinge era ku lwa Ssabasajja, yatongozza ekitabo ekyatuumiddwa, ‘Ennambika Entogole kwata ku kwanjula n’okwanjulibwa mu Buganda,’ n’akubiriza abo bonna abasuubura okukola emikolo gy’okwanjula okukyettanira kibasobozese okuddayo ku nnono y’Abaganda. Kululwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezezza nti, abazadde basaana okwewala ebikolwa ebitabangula emirembe mu maka, omuli; obutamiivu, okulwanagana, okuyomba, okumokkola ebigambo nga abaana bawulira n’embeera zonna ezesittaza.
Ate yye omukubiriza wabataka, jjajja Kayiira Gajuule yagambye nti ekigendererwa ky’omusomo kwabadde kwejjukanya n’okukuba ttooci mungeri gyebasobola okunyweza n’okuzza obuggya obuvunaanyizibwa bwabwe nga bagunjula bazzukulu baabwe mu nnono n’obuwangwa byabwe ng’Abaganda.
Yagasseeko nti omusomo gwolese nti obuluvu, obutabeera beesimbu, okweyagaliza, ate n’okusuula obuvunaanyizibwa byebimu kubireese ebizibu muggwanga.
Omusomo gwaguddwawo Bishop wabasoddokisi atwala amambuka ga Uganda ne Jinja, Silvesto Kisitu, eyategeezezza nti Amaka okubeera amalungi, Katonda alina okuba wakati muggo.
Abasomesa mu musomo kwabaddeko; Owek Joyce Mpanga, Omutaka Kyaddondo, Owek David Kyewalabye Male, Dr. Anatoli Kiriggwajjo n’abalala.
Omusomo gutambulidde ku mulamwa, “Amaka Agatebenkedde gwe musingi gwa Buganda ey’enkya”.
Era nga ggwetabiddwamu, Namasole Margaret Siwoza, Ssaabaganzi, Bakatikkiro abaawummula Dan Muliika ne Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Minisita w’amawulire, olukiiko, kabineeti, abagenyi era omwogezi w’obwakabaka, Noah Kiyimba, Abalangira n’abambejja, abaweereza b’obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo n’abakungu abalala bangi.