Musasi Waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde nnyo Bannagomba wamu n’ebennyumba ya Medard Kasiita Kiwanuka, eyali Kitunzi eyavudde mu bulamu bwensi.
Mu bubakabwe obuwandiike, Omutanda yagambye nti Kiwanuka Kasiita yakola emirimu mingi egigasa eggwangalye.
Obubaka bwa Kabaka mu bujjuvu
Tuwulidde amawulire g’okufa kw’eyali Ow’essaza Kitunzi Medard Kiwanuka Kasiita, kitalo nnyo.
Tubasaasidde nnyo olw’okuvibwako omuntu omukulu oyo ate afiiridde mu kiseera ekizibu ekitasobozesa kumusiibula mu kitiibwa ekimusaanidde.
Omugenzi tumujjukira olw’obuweereza eri Obwakabaka ne Namulondo naddala bweyaweereza nga Kitunzi okuviira ddala mu mwaka gwa 1993 nga Amasaza ga Buganda gazzibwawo okutuuka bweyawummula mu 2013.
Tujjukira Omugenzi olw’obuvumu n’obuweeerezabwe eri Essaza ly’e Gomba okumalira ddala ebbanga eddene era tusaasira nnyo Bannagomba olw’okufiirwa kuno.
Twebaza Katonda olw’obulamu bwe n’emirimu emirungi gyamukozesezza mu nsi.
Twebaza abaana n’abazzukulu olw’okumulabirira n’okumujjanjjaba mu bulwadde.
Tusaba Mukama abagumye mu buyinke n’omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.