Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde nnyo Bannayuganda mu bitundu eby’enjawulo abakoseddwa ennyo amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka ebiva ku nnamutikkwa w’enkuba atonnya tasalako ensangi zino. Bwabaddde mu Lubiri e Mmengo ku kijjulo kyagabudde bajjajja abakulu ab’obusolya, Kabaka asiimye nnyo abo abayambyeko abantu bano. “Njagala okusaasira bannaffe abakoseddwa ennyo amataba agavudde mu nkuba ettonya naddala mu bitundu bye Kasese, Sironko, Bududa nawalala. Njagala okwebaza abo bonna ebenyigidde mu kuyamba abantu abali mu bitundu ebyo. Ebitongole by’obwannakyewa ne bya gavumenti. Tusuubira nti embeera zaabwe zinaterera amangu eddala,” Kabaka bwategeezezza.
Mungeri yeemu, Ssaabasajja asiimye nnyo emirimu egikolebwa bajjajja abakulu ab’obusolya n’agamba nti kubbo, Obwakabaka kwebuyimiridde. “Tusiima nnyo emirimu emirungi egikolebwa abataka abakulu ab’obusolya okukuuma ennono n’ebyobuwangwa byaffe. Abataka muli mpagi y’amannyi nnyo mu nsonga eno era tubasiimira ddala,” Omutanda bwagambye. Ku lulwe, Omutaka Kayiira Gajuule Jjajja omukubiriza w’abataka abakulu ab’obusolya Fredcrick Kasibante, asiimye nnyo Ssaabasajja okusiima n’alambula embuga z’obutaka. N’agamba nti kino kinyweza enkulaakulana n’okukumaakuma abazzukulu babwe wamu n’okubamanyisa ensibuko zabwe. “Tuwera mumaaso go nti Abataka gy’otannatuuka tuli beetegefu okukwaniriza ku mbuga zaffe,” Omutaka Kayiira bwategeezezza.
Alopedde Ssaabasajja nti abamu ku bazzukulu babwe batandise okutaputa ennono ekifulannenge ekiviiriddeko n’ebyafaayo ebimu obutagobererwa bulungi. Anokoddeyo eky’abantu abamu okwagala okusikisa abaana baabwe abawala. “Abamu baggattika obusika n’obugagga ng’omuntu alowooza mukazi ye yandisise olw’ebyobugagga naye nga mu nnono yaffe omusajja yaasikira omusajja n’omukazi n’asikira omukazi ate nga wakikakye,” Kayiira bwategeezezza.
Obubaka bwa Ssaabasajja mu bujjuvu
Tusiima ne bazzukulu bammwe naddala abeewaayo okuyamba ebika byabwe mungeri ez’enjawulo. Twebaza nnyo omulimu ogugenda mu maaso mu bika ogw’okuzza obujja obutaka n’okunyweza endabirira y’ebyobugagga musonga z’ebika. Mu kika Ekirangira, twebaza Nnalinnya Nsangi akulembeddemu omulimu gw’okuzzaawo Amasiro ga Ssekabaka Kiyimba e Ssentema akulike akulikireyo ddala. Mwenna mukimanyi bulunig nti Obuganda bwazimbibwa era nga bujja kugenda mumaaso nga bwesigamye ku bumu. Obumu bwetwagala. Abataka tubasaba munyweze obumu obwo mu bazzukulu bammwe. Tujjukiza Abataka omulimu omukulu gwemulina okukuunga bazzukulu bammwe obuteerabira nnono ate n’okugisomesa abaana. Bazzukulu bammwe naddala abavubuka bebalina okukwata omumuli gw’ebika n’okugwagazisa abalala. Buli kika kirina abantu bakyo abatutumufu mubintu eby’enjawulo, katugambe nga mu by’obusuubuzi n’emubuyivu ne mubintu eby’enjawulo. Tubasaba nti mukunge abazzukulu ng’abo okwenyigira mu mirimu gyebika n’Obuganda okutwalira awamu. N’abazzukulu tubakoowoola okumanya obuvunanyizibwa bwabwe n’okubutuukiriza era tubasaba nti ensonga eno mugitwale nga nkulu nnyo. Mumanyi bulungi nti okuva edda nedda buli kika kyawandiisanga abazzukulu bakyo okuviira ddala kumpya okutuuka ku kasolya. Ensonga eno nkulu nnyo. Ebika ebigoberera enkola eno tubisiima nnyo era wewabaawo ebika ebigayaddemu, tubisaba nti, ensonga eno batandike okugikolako. Kikulu nnyo wabeewo entandikwa newankubadde kijja kuba kizibu. Wabula kisaana okukolebwa n’obwegendereza nga mugoberera ennono nga bwezirambikiddwa kunsonga eno. Sirema kukoona ku nsonga zino enkulu ennyo zetusuubira nti fenna zitukwatako. Okusooka, njagala okusaasira bannaffe abakoseddwa ennyo amataba agavudde mu nkuba ettonya naddala mu bitundu bye Kasese, Sironko, Bududa newalala. Njagala okwebaza abo bonna ebenyigidde mu kuyamba abantu abali mu bitundu ebyo. Ebitongole by’obwannakyewa ne bya gavumenti. Tusuubira nti embeera zaabwe zinaterera amangu ddala. Ensonga ey’okubiri kwekubajjukiza ku bulwadde bwa siriimu. Tuleme kukoowa kumanyisa abantu baffe omutawaana oguli mu kirwadde kino. Siriimu taggwangawo era tunakuwala nnyo okuwulira nga akyatabaala mu baana abato, abavubuka n’abantu abalala. Kulwange, sijja kukoowa kumanyisa abantu baffe omutawaana oguli mu kirwadde kino. Ensoga eyokusatu, bwebutemu n’okubuzaawo kwa bantu baffe. Ensonga esembayo y’ensonga y’ettaka. Wano mu Buganda enkolagana y’abebibanja ne bannayini ttaka teriiko buzibu naye ebigenda mu maaso ennaku zino bituleetera okunakuwala. Tetwagala baabibanja kunyigiriza nannyini ttaka wadde nannyini ttaka okunyigiriza ab’ebibanja naye okubeerawo n’enkolagana ennungamu nga bwekyabeeranga edda. Abataputa obulala n’okuvumirira entekateeka eno tebaagaliza Buganda bulungi n’enkulaakulana y’eggwanga.