Bya Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti asaaliddwa nnyo olw’okufa kwa musajjawe enkwata ngabo, Ssekiboobo eyawummula Alex Kikonyogo Kigongo.
Mu bubukabwe obw’okusaasira, Ssaabasajja ategeezezza nti amawulire g’okufa kwa Kigongo okw’ekibwatukira gamukubye wala.
Obubaka bwa Kabaka mu bujjuvu
Ssabasajja Kabaka enkya ya leero afunye amawulire ag’ennaku ennyo ag’okufa okw’ekibwatukira okwa Oweek. Alex Kikonyogo Kigongo, Ssekibobo eyasaba okuwumula omwaka oguyise.
Ssabasajja anakuwalidde nnyo okufa kwa musajjawe enkwata ngabo era amusaliddwa nnyo nnyini.
Omugenzi yakola kinenne nnyo okugatta abantu ba Kabaka e Kyaggwe era yasobola okuzzaawo etuttumu ly’e Ssaza eryo nga buli mulimu gwatuusaako engalo agukola bulungi ddala.
Ssaabasajja abadde akyamulinamu essuubi lingi era amusaliddwa nnyo.
Ssabasajja asasiide nnyo Namwandu Sara Kikonyogo eyalwadde olw’ekikangabwa kino era nga akyali mu ddwaliro.
Ssabasajja amusabira wamu n’abaana, Mukama abagumye okuyita mu kaseera akazibu