![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/10/Mathias-Katamba-1024x548.jpg)
Bya Musasi waffe
Ssabassajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye n’alonda olukiiko olufuzi olupya olunaakulira leediyo ya CBS. Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa woofiisi ya Katikkiro kyategeezezza nti oluvanyuma lw’okufa kw’eyali ssentebe wa boodi, Godfrey Kaaya Kavuma mu August, yabaddewo obwetaavu bw’okuluzza obujja. Omukungu Mathias Katamba, ono nga ssenkulu wa bbanka ya DFCU, yeyalondeddwa nga sentebe omugya nga wakumyukibwa Omukungu David Balaka. Ate bammemba kuliko, Owekitiibwa John Katende, omukungu Hubert Kibuuka , Omukungu John Fred Kiyimba, omukungu Mansoor Bunnya, omukyala Solome Nasejje Luyombo wamu n’omukungu Michael Kawooya Mwebe, ng’ono ye ssenkulu wa CBS era nga yemuwandiisi wa boodi. Ekiwandiiko era kyategeezeza nti waggya kulondebwayo ba mmemba abalala basatu nga bano baakuva mu bannanyini migabo egy’obwassekinnoomu.
“Ssabajja Kabaka asiimye nnyo emirimu egyakolebwa Owek. Godfrey Kaaya Kavuma ebbanga lye yamala nga ssentebe w’olukiiko olulabirira leediyo ya CBS wamu ne bonna ababadde bakiika ku bboodi eyawumudde,” ekiwandiiko nga kyatereddwako omukono Katikkiro Charles Peter Mayiga, bwekyategeezezza. Mayiga era yalaze essuubi Kabaka lyalina mu lukiiko oluggya olw’obukugu n’obumanyirivu bwebalina nagamab nti kino kigenda okusobozesa CBS okusigala ng’ekyaleebya leediyo endala zonna muggwanga.