Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde Ssenga wa Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Ekiria Kyolya, eyafudde ku Mmande ya wiiki eno. Mu bubaka bwe obumusomeddwa omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa mu Lutikko e Namirembe, Omutanda ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde asembeza abantu ab’enjawulo era omukozi ennyo.
Ku lulwe, Owek. Nsibirwa, asaasidde Maama Nnaabagereka olw’okuviibwako Ssenga we era n’Obuganda bwonna olw’okufiirwa omuntu abadde ow’omugaso ennyo.
Abakungubazi ab’enjawulo beebazizza omutonzi olwobulamu bw’omugenzi Ekiria Kolya, abaana era ne bamutenda olw’okubeera omuntu ayagala abantu era omwetowaze.
Omukolo guno gwetabiddwako; Katikkiro eyawummula Daniel Muliika, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwagga Mugumbule, Owek. Daudi Mpanga, Omulamuzi Irene Mulyagonja awamu n’abakungu abalala.
Mu ngeri y’emu Ssaabasajja asaasidde Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Roanld Muwenda Mutebi II, aweerezza obubaka bw’okusaasira eri ab’enju, eng’anda, n’emikwano okusingira ddala Mukyala Nabakooza Kigozi, olwokufiirwa bba James Kigozi eyafiira e London.
Omutanda amutenderezza olwokuweereza Obuganda mu ngeri ez’enjawulo n’okukuuma ekitiibwa ky’ennono za Buganda era n’afuba okuweereza Obwakabaka emitala w’amayanja.
Obubaka bw’Omutanda busomeddwa Nnaalinnya Elizabeth Nakabiri ku mukolo gw’okuziika omugenzi e Ssemuto mu ssaza ly’e Bulemeezi.