Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye bajjajja abakulu ab’obusolya obutaleka mabega bavubuka mu nteekateeka zonna ez’ebika.
Bwabadde ayanjulirwa Omutaka Namwama akulira ekika ky’e Kkobe, Augustine Kizito Mutumba mu Lubiri e Mmengo, Kabaka agambye nti abavubuka nabo kyetaagisa okumanya n’okutegeera obulungi ebyafaayo n’ennono z’ebika.
“Mu kika kye Kkobe nga bwekiri ne mu bika ebirala mulimu bazzukulubo bangi nnyo nga bayivu era nga bakola emirimu egy’enkizo era nga bakola emirimu egyenjawulo. Abazzukulu bano, tukusaba okubakunga wamu n’olukiiko lwo babe nga beenyigira mu mirimu gy’ekika n’okukikulaakulanya,” Kabaka bweyagambye.
Kabaka era yasabye Namwama n’abakulu b’ebika abalala okukuuma ettaka n’ebifo ebikulu eby’ebika era n’okulaba ng’ebintu bino bikuumibwa butiribiri ng’oko kw’ogatta okubiwandiika n’okubikulaakulanya.
“Tewali nsonga egaana ebika okuyingiza ensimbi nga birina ebifo eby’ebyafaayo ebisobola okufuuka eby’obulambuzi ne muvaamu ensimbi,” Omuteregga bweyagambye.
Ku lulwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga, yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okugonjoola endoolito mu bika ebiwerako.
Oweek. Mayiga yagambye nit mubbanga ttono eriyise, ayaanjulidde Kabaka abataka eb’enjawulo omuli Omutaka Kyeyune ow’ennyonyi Nakinsige, wamu n’Omutaka Kasujja Kyesimba ow’Engeye.
“Ate emabegako awo, Ssaabasajja azze eteereza ebika ebitali bimu ng’ekika kye Nseenene. Takomyewo, Ssaabasajja yasiima okulambula Obutaka bwe bika. Yalambula Ennyonyi Endiisa, Namungoona, Ekinyomo, Effumbe, Emmamba ate era Omuteregga atera naasisinkana Abataka omu kw’omu ne bamubuulira ebifa mu bika,” Katikkiro bweyagambye.
Yagasseeko nti engeri ebika gyebitambulamu eyongera okunwyeza Obuganda kubanga ennono y’ebika yeetufuula Abaganda.
Mayiga era yawabudde nti abantu bwebagenda mu mbuga balina okukimanya nti wabaayo oludda oluwangula n’oludda olula omusango gwelusinga.
“Omusango bwegwanjulwa mu ddiro lya Katikkiro mu mbuga ya Kisekwa gusalwa era gubaako awangula nawangulwa. Omuntu waddembe okujulira mu mbuga ensukkulumu bwaba tamatidde naye ebisalwawo byebyenkomeredde mu nnono ya Buganda era bwetugenda ewa Ssaabataka wabaayo oludda oluwangulwa,” Mayiga bwyeagambye.
Omusango ab’ekika kye Kkobe mwebaali bakaayanira obwa Namwama gwasalwawo Ssaabasajja Kabaka nga 22 Mugulansigo 2016.
Ensalawo eno yeyavaamu okulondebwa kwa Augutine Kizito Mutumba nga Namwama.
Ssalongo Augustine Kizito Mutumba azaalibwa omugenzi Maliko Male agalamidde e Jjalamba Mawokota.
Muzzukulu wa Fulujensio Mirundi Omutaka Muwakanya , Muzzukulu wa Zirifaani Kizito Nsereko, ava mu Muwakanya Omutaka Namwama owa 30 agalimidde e Magala Muduuma.
Ava mu Namwama Nsereko Kalamazi e Teketwe Buwama Mawokota, ava mu nju ya Maliko Male, mu lujja lwa Fulujensio Mirundi, mu Lunyiriri lwa Kizito Nsereko, mu Mutuba gwa Muwakanya e Magala Buzimwa, mu lunyiriri lw’akasolya olwa Kyana e Magala Tiribogo Buzimwa omuva alya obwa Namwama mu be Kkobe.
Azaalibwa omukyala Teopista Nakibuuka ava mu Ssiga lya Miiro e Zzinga mu Kasolya ka Gabunga ow’Emmamba.
Mutuuze ku kyalo Nabbingo mu ggombolola ya Ssaabagabo Nsangi mu Busiro.
Yasooka n’asoma Obusomesa mu ttendekero ly’abasomesa e Busuubizi.
Yakola ebigezo ebyamuyingiza e Makerere era alina diguli bbiri okuva e Makerere kati gyakolera ng’omu kubaddukanya emirimu.
Omukolo gwetabiddwako minisita w’obuwangwa, David Kyewalabye Male , Omukibiriza w’olukiiko lwa bataka, Kayiira Gajuule, Ssabalangira Musanje wamu n’Omutaka Kasujju Lubinga.