Musasi Waffe
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye emirimu egikolebwa abavubuka mukukulakulanya Buganda kyokka n’abasaba okwemanyiiza okutereka ensimbi nti olwo lwebanaasobola okwejja mubwavu. Okwogera bino, Omutanda abadde mu gombolola ye Maanyi mu Ssaza lye Busujju mukukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda. “Abavubuka tukimanyi nti mukola emirimu mingi era tugisiima naye temujja
kusobola kwekulakulanya okujjako nga mukola n’ekigendererwa ekyokuzimbira awamu eggwanga. Mulina okwemanyiiza okutereka ensimbi ezinabasobozesa okweyimirizaawo, okwekulakulanya n’okukulakulanya eggwanga; eno yeemu kuntandikwa y’okwejja mubwavu,” Kabaka bweyategeezezza. Omutanda agasseeko nti yenyumiriza nnyo mungeri abavubuka gyebewaddeyo mukulwanirira bwakabaka n’eddembe ly’obuntu.
Yagasseeko nti newankubadde abavubuka n’Obwakabaka balina ebintu bingi ebibasoomooza ng’ebbula ly’emirimu, okusengula abantu mubitundu byabwe, n’ebirala, bateekeddwa okuba abavumu, ssaako okulemera ku nsonga ezinyigiriza awatali kutunda ggwanga olw’ebyenfuna nga bwekirabika mubantu abamu ennaku zino.
Omutanda asabye abavubuka okwongera okwekuuma era n’okukubiriza bannabwe okwekuuma akawuka kamukenenya, nti olwo lwebanaasobola okukolera eggwanga lyabwe. Katikkiro Charles Peter Mayiga kululwe, yeebazizza nnyo Bannabusujju olw’okwaniriza Kabaka mukitiibwa. Mayiga ategeezezza nti nga gavumenti ya Kabaka, bakola butaweera okulaba nga batumbula omutindo gw’abavubuka.
“Kabaka bweyawa omulembegwe abavubuka mu 2002 , yali ayagala abavubuka beetegekere bulungi ebiseera byabwe eby’omumaaso babyeyagaliremu.Naye wadde omulembe yaguwa abavubuka, ate ye Kabaka yalagira gavumentiye, etandikewo ebitongole n’amakampuni bibangule abavubuka bano bibawe n’emirimu, kampuni nga CBS, Buganda Land Board, BBS Terefayina, K2 telecom, Ssuubiryo Zambogo Sacco, Muteesa I Royal University, Buganda Royal Institute, Majestic Brands, Kabaka Foundation, n’ebitongole ebirala, ababikolamu ebitundu kyenda ku buli kikumi, bavubuka,” Mayiga bwagambye.