• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Kabaka agguddewo Olukiiko lwa Buganda olwa 28

Gambuuze by Gambuuze
January 11, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Kabaka agguddewo Olukiiko lwa Buganda olwa 28
0
SHARES
40
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye naggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 28. Omutanda atuuse ku mbuga enkulu e Bulange -Mmengo ku nkya ya leero ku ssaawa ttaano zennyini wakati nduulu okuva ku basajja be.

Ssaabasajja Kabaka nga awerekerwako Katikkiro Mayiga ne Nnaabagereka Nagginda

Beene asoose kusiima kulamusa ku Mujaguzo mu luggya lwa Bulange n’oluvannyuma n’ayingira mu kisenge awatuula Olukiiko ng’abadde awerekeddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda era nga ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Omutanda bwatudde ku Nnamulondo, omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda era minisita wa kabbineeti n’abagenyi, Owek. Noah Kiyimba,  nayanjulira Kabaka abantu abenjawulo beyasiima naawa obwami ku mitendera egy’enjawulo.

Mu bano baweredde ddala 56 era nga mubaddemu Abaami b’amasaza, abakiise mu lukiiko lwa Buganda omuli ab’ebibiina by’abavubuka, ab’amawanga ag’enjawulo, ab’Amasaza n’abalala.

Abamu ku bakiise abazze okweyanza obwami

Bano beeyanzizza Obwami wabula nga kino kikoleddwa mu ngeri ya kinnassaayansi okusobola okutangira okusaasaanya Ssennyiga omukambwe era ng’abakiise bana bokka be bakiikiridde bannaabwe mu kuwera mu maaso ga Kabaka.

Ssaabasajja asinzidde wano nategeeza nti  omulamwa gw’okuggulawo Olukiiko luno kwe kulaba nga enteekateeka z’emirimu gy’Obwakabaka zitwalibwa mu maaso.

 Omutanda era asaasidde abafiiriddwa abantu baabwe olw’ensonga ez’enjawulo.

 “Nziramu okusaasira abantu baffe abafiiriddwa abantu baabwe olwa Covid -19 n’endwadde endala.” Ssaabasajja bw’ategeezezza. “Nsaasira abo abafiiriddwa abantu baabwe olw’ettemu. Tulumirirwa wamu n’abantu bonna abakoseddwa olw’embeera eriwo.”  Beene bw’agasseeko.

Mu bubaka bwe, Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, aloopedde Ssaabasajja nti emirimu gy’Obwakabaka gikoseddwa nnyo ekirwadde kya Covid-19 era n’amujjukiza nti n’Olukiiko luno lwalina kuggulwawo mu Gwamunaana wabula obulwadde nebutakiganya kusoboka.

 Mukuumaddamula era ategeezezza Nnyinimu nti wakati mu kusoomoozebwa ebitongole wamu n’Abaami ba Kabaka, bafubye okukola emirimu.

 “Emirimu gy’Olukiiko n’egya kabbineeti gyatataaganyizibwa naye tubadde tutetenkanya ne tukola ebyo ebisoboka. Wano Katikkiro we yeebalizza Abaami ba Kabaka era n’ayozaayoza abalidde Obwami, kyokka nabajjukiza nti, “Obukulembeze kitegeeza kutema mpenda na kuvvunuka bizibu. Omukulembeze ebizibu tabifuula luyimba.”

Omukolo gwetabiddwako abanene okuva mu gavumenti ya Kabaka omubadde; Omulangira David Kintu Wassajja, Nnamasole wa Buganda, Owek Margret Siwoza, omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka omuggya, Namwama Augustine Kizito, Omutaka Kasujju Lubinga, Omutaka Mugema  Ssaabalangira, Ssaabaganzi wa Buganda n’abakulira ebitongole by’Obwakabaka.

Abakiise abasinga obungi wamu n’abantu baabulijjo abanyumirwa omukolo guno, omukolo bagugoberedde bayita ku mutimbagano ne ku ntimbe za Terefayina wamu ne leediyo okwewala okukung’aana ekyandiviiriddeko okusaasaanya obulwadde bwa Ssennyiga omukambwe obwa Covid-19.

Mu beeyanzizza obwami kuliko; Owek. Agnes Nakibinge Sempa owa Kyaddondo, Owek. Jude Muleke owa Buddu, Omulangira Ronald Mulondo eyalya obwa Kkangawo e Bulemezi n’abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.