Bya Ssemakula John
Kampala
Omukulu w’ekika ky’Embogo Jjajja Kayiira Gajuule nga yabadde Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka awaddeyo woofiisi eri Omukubiriza w’Abataka omuggya Namwama Augustine Kizito Mutumba ku mukolo ogubadde ku Bulange e Mmengo leero ku Mmande.
Jjajja Gajuule yeebazizza Beene olw’okumulengera n’amukwasa obuvunaanyizibwa buno era n’akkiriza n’amuwa ttiimu gy’asobodde okukulembera nayo okuva mu mwaka gwa 2013.
Ono yayitidde omukubiriza omuggya ku bimu bye basobodde okutuukako mu bbanga lye babadde mu buvunaanyizibwa buno omuli; okujjumbira enkiiko z’abataka ezituula buli mwezi nga kutandikwa batuula nga abataka 13 naye kati babadde batuula abataka 27.
Wabaddewo okulung’amya abakiise era mu mbeera ng’omutaka tasobodde kubeerawo mu lukiiko aba abalina okuweereza omukiise omutongole okumukirira.
Gajuule yategeezezza nga ekimu ku bintu bye yatandikirako nga omukubiriza kwe kwali okuddamu okusimba emiti gy’ebika by’Abaganda egya Kabakanjagala era nga ku nteekateeka eno baafuna obuyambi bwa maanyi okuva ewa Mmeeya wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo.
Yalaze nga bwe basobodde okutumbula ebika, ennono wamu n’obuwangwa mu bazzukulu naddala mu nkola y’emikolo egy’ennono.
Omutaka Kayiira yannyonnyodde nti, basobodde okuwandiika obutaka obwenjawulo okulung’amya abazzukulu ku nsonga ez’enjawulo, okutegeka Ttabamiruka w’abazzukulu ba Buganda abawangaalira e Bungereza, bataddewo eng’oma ez’emizinga era Beene n’asiima zikubibwe ku buli mikolo gy’Amatikkira.
Ono yasabye Omutaka Omuggya okutwala obuvunaanyizibwa atwale mu maaso ebimu ku bibadde bituukiddwako n’okwongera okubyagazisa Abaganda.
“Nsaba nkujjukize nti abataka abakulu ab’obusolya z’empagi okutuula Obwakabaka nga twesigama ku ndagaano ezaakolebwa bajjajjaffe ne Kabaka Kintu, osobole okukuuma Nnamulondo nga nywevu.
Nga omukubiriza oteekwa okwewala okuwugulwa abazzukula abeegwanyiza obukulu obutali bwabwe,” bwatyo Gajuule bwe yamukuutidde.
Omukubiriza Omuggya Namwama Kizito Mutumba yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumuwa omukisa akulembere Obuganda ng’ayitira mu lukiiko lw’Abataka.
Namwama Kizito yasuubiza okukola ekisoboka ng’ali wamu n’Abataka abakulu b’obusolya nga bwekyalambikiddwa mu ndagaano eyakolebwa e Nnono eraga nti Ssaabasajja ye Ssaabataka era omukulembeze waabwe.
Yeebazizza Jjajja Gajuule olw’omusingi gwasimye naddala ng’aggumiza empisa mu bazzukulu n’amwebaza olw’ensibirira n’entanda gya muwadde nga amuyisa mu alipoota eraze ebikoleddwa.