Bya Musasi waffe
Janet Museveni, muk’omukulembeze w’eggwanga era minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo, alumirizza abavuganya gavumenti okubeera emabega w’akeegugungo mu ssetendekero e Makerere kati akanyingidde olunaku lw’omukaaga. Mubbaluwa gyawandiise nga esoose kufulumira mu lupapula lwa gavumenti olwa New Vision, Janet Museveni yagambye nti balina amawulire agalaga anti abo abekalakaasa sibayizi be Makerere oba ssetendekero endala yonna wabula bantu abasasulwa bannabyabufuzi okuleetawo obujagalalo muggwanga. “Abantu abeekalakaasa beebo abagufudde omulimu okwetaba mubuli kwekalakaasa muggwanga yonna gyekubeera. Abo abavuganya gavumenti abateekebwamu omusimbi omungi abantu abatannamanyika, bagufudde muze okukozesa abaana abatalina mirimu buli webakizuula nti kibagasa,” Mukyala Museveni bweyagambye. Yayongeddeko nti abo abakole ebikolwa bino barina okukizuula nti buno buli bwanguzi kakuuse eggwanga bulijjo bwelyogerako. “Bwowulira obuli bwenguzi sokeera kuggwe wennyini oyinza okuba ggwe asinga abo boolumiriza. Osasula abaana okwenyigira mubioklwa ebimenya amateeka? Osasula abantu abatali bayizi mu massetendekero okwekalakaasa? Osasula bannamawulire abagwira okujja wano okuwandiika ebintu byebatalinaako kumanya kubanga oyagala okukakasa ensi nti byoyogera byebituufu? Okozesa okwekalakasa kwe bisale bya ssetendekero ng’olina byeweeyagaliza? Bwoba okola ebyo waggulu omulundi omulala tosonganga olunwe mumuntu mulala nti mukenuzi, wetandikireko,” bwatyo Janet bweyagambye.