Bya Ssemakula John
Kampala
Munnamateeka Hassan Male Mabirizi addukidde mu kkooti ya East Africa elafubanira obwenkanya nawakanya okulondebwa kwa Jacob Oulanyah nga Sipiika omuggya owa Palamenti y’e 11 gwagamba nti yalondeddwa mu bukyamu.
Okusinziira ku biwandiiko Mabirizi byatutte mu woofiisi za kkooti eno e Kololo, Mabirizi agamba nti obululu obwalangiriddwa bwabadde bungi okusinga ku muwendo gw’ababaka ababaddewo ku lunaku lw’okulonda ekintu ekimenya amateeka.
Mu musango guno, Mabirizi era awakanya ekya Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo okukulemberamu okulondesa kuno ate nga Oulanyah mukwano gwe era nga yamuteeka ku biwandiiko bye ebimwogerako nga abamu ku bantu abasobola okumuweera obujulizi ku bimukwatako.
Kati Mabirizi ayagala kkooti ya ‘East African Court of Justice’ erangirire nti okulondebwa kwa Oulanyah kwali kukyamu era eragire wategekebwewo okulonda okuggya okusobola okulonda Sipiika omutuufu.
Ono ayagala n’okulonda kwa Sipiika kw’omumyuka wa Sipiika nakwo kuddibwemu kubanga Oulanyah eyali akukubiriza yali mukyamu kuba naye okulondebwa kwe nakwo kwali kukyamu era kulina okuddibwamu.
Ekirindiriddwa kwe kulaba oba kkooti eno enagenda mu maaso n’okuwulira omusango guno era oba kinaasoboka okulondebwa kuno okuddamu okutegekebwa.
Kinajjukirwa nti wiiki ewedde ababaka bakungaanira e Kololo okulonda Sipiika n’omumyuka we era nga olwokaano lwalimu bannakibiina kya NRM babiri okuli Rebecca Kadaga ne Jacob Oulanyah awamu ne Ssemujju Nganda owa FDC.
Gyebyagweredde nga Oulanyah awangudde obwa Sipiika ate ekifo ky’omumyuka wa Sipiika nekiwangulwa Anita Among eyawangudde Muhammad Nsereko ne Yusufu Nsibambi.