![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Katikkiro-Mayiga-Gambuuze.jpg)
Bya Ssemakula John
Kampala
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti ekwasizeeko amyuka Cansala wa Makerere University, Barnabas Nawangwe okusobola okukola okunoonyereza ku nsibuko y’omuliro ogwasaanyizzaawo ekizimbe kino eky’ebyafaayo.
“Nina obwesige mu gavumenti nti ejja kuyambako amyuka Cansala, Barnabas Nawangwe okunoonyereza ku nsibuko y’omuliro guno awamu n’okulaba ng’ekizimbe kino kiddamu okuzimbibwa mu kifaananyi kyakyo kiddemu okuzimbibwa nga bwe kibadde.” Mayiga bwe yategeezezza.
Obubaka buno Katikkiro yabutadde ku mukutu gwe ogwa Twitter ne Facebook n’ategeeza ntinomuliro ogusaanyizzaawo ekizimbe kino ky’ekimu ku bintu by’ennaku ezituuseewo ku mu myaka 98 egy’ebyafaayo ssettendekero ono gy’amaze
Katikkirio Mayiga yagambye nti, ebimu ku biwandiiko ebyasaanyeewo tolina muwendo gw’osobola kubiteekako wamu n’ebintu by’ebyafaayo byonna byasaanyeewo mu muliro guno ogwakutte ekizimbe kino mu kiro ekyakeesezza ku Ssande.
Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Museveni olwaleero alambudde ekizimbe kino n’ategeeza nti kuno okufiirwa si kwa Makerere yokka wabula eggwanga lyonna.
Janet Museveni yannyonnyodde nti, okunoonyereza ku nsibuko y’omuliro guno kwatandise dda era bagenda kutandikirawo kaweefube w’okulaba ng’ettendekero lino liddamu okuzimbibwa mu ngeri eggyayo ekitiibwa kyalyo.
“Ffe abakkiririza mu Katonda, tumanyi nti buli kimu kibeeramu ekirungi, kano ke kadde Makerere eddemu okuzimbibwa si kizimbe kyokka wabula n’ekitiibwa kye, empisa z’abantu nabuli kimu ekikwata ku ssettendekero ono ow’ebyafaayo,” Museveni bwe yalambuludde.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirilaano Luke Owoyesigire yagambye nti, bye baakafunawo biraga nti omuliro guno gwatandikidde mu kasolya olwo negusaasaanira ebitundu ebirala eby’ekizimbe.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire leero ku Ssande, Amyuka Cansala wa Makerere Barnabas Nawangwe ategeezezza nti omuliro guno baagulabye eddaakiika ntono nga gwakatandika naye nebalemererwa okuguzikiza.
Ono yakakasizza nti, ekizimbe kino kigenda ku nzimbibwa mu kitiibwa kyakyo nga bwekibadde mu kaseera katono nnyo.
Kinajjukirwa nti, Omuliro ogwakutte ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro mu kiro ekyakeesezza ku Ssande, gwasaanyizzaawo ekizimbe kino ekisinga obukadde era nga Ssettendekero ono kye yatandikiramu mu biseera by’abafuzi b’amatwale ng’eyitibwa Makerere College.