Bya Musasi Waffe
Omuzannyi w’omupiira Ibrahim Kayiwa azzeeyo mu ttiimu ya Express gy’aba asambira omupiira sizoni ejja.

Kayiwa ow’emyaka 25 yasazizzaamu endagaano ye ne ttiimu ya Tooro United era kati ono afuuse omusambi owa 13 okwegatta ku Express sizoni eno.
Aba Express bakakasizza ng’ono bw’agenda okubayamba okuvuganya obulungi mu liigi. Okusinziira ku mutimbagano gwa ttiimu eno, Kayiwa yaweereddwa endagaano ya myaka ebiri.
Bweyabadde ayogerako eri abawagizi ne bannamawulire nga bamwanjula, Kayiwa yagambye nti musanyufu okudda ku ttiimu eno kubanga e Wankulukuku waafuuka waka era n’asuubizza okubawangulira ebikopo.
“Ndi musanyufu okudda ku Express kubanga ku nze wabeera waka.” Kayiwa bwe yagambye.
Kayiwa yatandika okuzannyira Express FC mu 2014, nga yabateebera ggoolo musanvu ate n’ayambako okunyeenya akatimba emirundi kkumi miramba bwe yali tanneegatta ku SC Villa mu 2018 gye yava okugenda mu Busoga United (Kirinya Jinja SS) mu 2019.
Kayiwa ye musambi owookutaano Express gw’ereese okuva mu Tooro United ng’abalala kuliko; Charles Musiige, John Byamukama, Godfrey Lwesibawa, ne Cryspus Kusiima.








