Bya Stephen Kulubasi
Busiro – Kitende
Ttiimu y’essaza lya Gomba ey’omupiira emanyiddwa nga Gomba Lions ekoze ebyafaayo bw’esitukidde mu kikopo ky’omwaka 2020 oluvannyuma lw’okukuba ttiimu ya Buddu ku mutendera gwa fayinolo ggoolo 3-1 wali ku kisaawe kya St. Mary’s Stadium ekisangibwa e Kitende.
Gomba ekikopo kino ekiwangudde mulundi gwakutaano bw’etyo n’ewangula ekikopo, emidaali gya zzaabu awamu ne ssente obukadde 12.
Omupiira guno ogunyumidde abalabi nga gubadde gulagibwa butereevu ku BBS Terefayina, gwatandikidde mu ggiya era ggoolo ya Gomba eyasoose yagifunye mu ddakiika eyookubiri mu kitundu ky’omuzannyo ekyasoose ng’eno yateebeddwa Bbaale Charles.
Omusambi Ezra Namasa y’asobodde okufunira Buddu ggoolo ey’ekyenkanyi ne gubeera 1-1 wabula tewayise ddakiika ziwera, Gomba n’eteeba eyookubiri ng’eyita mu musambi George Kaddu.
Mu kitundu kye kimu ekisooka nga Buddu ekyanoonya ey’ekyenkanyi, muzannyi Gift Fred yafunidde Gomba ggoolo eyookusatu olwo embeera n’etabukira bannabuddu.
Ekitundu ekyokubiri kyagenze mu maaso naye nga temuli nnumba z’amaanyi era bw’egutyo omupiira ne guggwa nga guli 3-1.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asiimye Gomba olw’okwolesa omutindo omulungi era ne yeebaza ne Buddu olw’okulwana okutuuka ku mpaka zino.
Owek. Mayiga agambye nti Ssaabasajja Kabaka yeebazizza abategesi b’empaka zino okuli abavujjirizi okuli; Airtel, Centenary Bbanka, FUFA awamu n’abalala. Gomba eweereddwa obukadde bwa Ssiringi 12 ate Buddu n’efuna obukadde 9, ttiimu ya Busiro ekutte ekyokusatu efunye obukadde 7 olwo yo Bulemeezi ekutte ekyokuna n’efuna obukadde 5.