• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Gomba esitukidde mu kikopo ky’Amasaza ekya 2020, ekubye Buddu 3-1

Gambuuze by Gambuuze
March 6, 2021
in Agafa e Mengo, Ebyemizzanyo
0 0
0
Gomba esitukidde mu kikopo ky’Amasaza ekya 2020, ekubye Buddu 3-1
0
SHARES
64
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Busiro – Kitende

Ttiimu y’essaza lya Gomba ey’omupiira emanyiddwa nga Gomba Lions ekoze ebyafaayo bw’esitukidde mu kikopo ky’omwaka 2020 oluvannyuma lw’okukuba ttiimu ya Buddu ku mutendera gwa fayinolo ggoolo 3-1  wali ku kisaawe kya St. Mary’s Stadium ekisangibwa e Kitende.

Katikkiro Charles Peter Mayiga nga akwasa Kapiteeni wa Gomba ekikopo

Gomba ekikopo kino ekiwangudde mulundi gwakutaano bw’etyo n’ewangula ekikopo, emidaali gya zzaabu awamu ne ssente obukadde 12.

Omupiira guno ogunyumidde abalabi nga gubadde gulagibwa butereevu ku BBS Terefayina, gwatandikidde mu ggiya era  ggoolo ya Gomba eyasoose yagifunye mu ddakiika  eyookubiri mu kitundu ky’omuzannyo ekyasoose ng’eno yateebeddwa Bbaale Charles.

Omusambi  Ezra Namasa y’asobodde okufunira Buddu ggoolo ey’ekyenkanyi ne gubeera 1-1 wabula tewayise ddakiika ziwera, Gomba  n’eteeba eyookubiri ng’eyita mu musambi George Kaddu.

Mu kitundu kye kimu ekisooka nga Buddu ekyanoonya ey’ekyenkanyi, muzannyi Gift Fred yafunidde Gomba ggoolo eyookusatu olwo embeera n’etabukira bannabuddu.

Ekitundu ekyokubiri kyagenze mu maaso naye nga temuli nnumba z’amaanyi era bw’egutyo omupiira ne guggwa nga guli 3-1.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asiimye Gomba olw’okwolesa omutindo omulungi era ne yeebaza ne Buddu olw’okulwana okutuuka ku mpaka zino.

Owek. Mayiga agambye nti Ssaabasajja Kabaka yeebazizza abategesi b’empaka zino okuli abavujjirizi okuli; Airtel, Centenary Bbanka, FUFA awamu n’abalala. Gomba eweereddwa  obukadde bwa Ssiringi 12 ate Buddu n’efuna obukadde 9, ttiimu ya Busiro ekutte ekyokusatu efunye obukadde  7 olwo yo Bulemeezi ekutte ekyokuna n’efuna obukadde 5.

Share this:

Tags: BudduGombaKatikkiro MayigaMasaza Cup
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist