Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Emisinde egitegekebwa Rotary buli mwaka gikomyewo naye mu 2026, gya kubaawo nga 30 Muwakanya, gikyali ku mulamwa gwa kulwanyisa kkooko era omwaka guno gigendererwamu okugula ekyuma ekikalirira abalwadde ba kkkokolo mu waadi eyazimbibwa ku ddwaliro e Nsambya.

Abali ku lukiiko oluteekateeka omwaka guno bakiise Embuga okwanjula enteekateeka yaabwe ey’omwaka guno n’okufuna obuwagizi bw’Obwakabaka mu nsonga eno.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ansizidde mu nsisinkano eno n’akoowoola bannayuganda bonna okuwagira emisinde gino nga bagula emijoozi wamu n’okwetaba mu kudduka, era akikaatiriza nti Rotary esoosowaza ebirina okusiosowazibwa mu nsi nga ebyobulamu.
“Rotary ekiginjagaza esoosowaza ebyo ebirina okusoosowazibwa, kuba bwoba oyagala tube yaddeyaddeko ku Ssemazinga wa Africa mu byenfuna, ne mbeera mwe tubeera, ssosowaza byabulamu kubanga omulamu y’akola” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro anyonyodde nti enkwata n’engabanya y’ebifo y’obukulembeze mu Rotary nnungi kuba obukulembeze bukulu nnyo mu kukuza ekitongole nga Rotary, naddala nga basembeza abaana abato okubayigiriza enkola y’emirimu nga batema empenda ezivvuunuka ebizibu kireetera ekibiina okugenda mu maaso.
Oweek Mayiga alaze nti ebizibu birina okusalirwa amagezi, era ekyokulabirako awadde kya kkookolo ekiri mu ggwanga, Rotary kye yasalira amagezi okuzimbira eddwaliro nga kaakano enonya nsimbi kugula kyuma ekinajjanjaba abalwadde.
Ssentebe w’enteekateeka y’emisinde gino Meddie Lutaaya alaze nti guno omulundi gwa 15 nga badduka kyokka nga omwaka guno baagala okutuusa obubaka bwa kkookolo mu bantu olw’omuwendo omunene ogweyongodde mu ggwanga nga batambulira ku mpagi nnya okuli; okumanyisa abantu ku kkookolo, okukebera n’okujjanjaba, okuzimba waadi ya kkokolo, era ono akoowodde buli muntu okwetaba mu misinde gino okubaako enkyukakyuka gye bakola mu nsi yaabwe.

Emisinde gino gya kubeera mu bitundu by’eggwanga byonna, kyokka nga okusimbula okukulu kwa kusinziira ku kisaawe e Kololo.









