Bya Ssemakula John
Kampala
Akwatidde ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT), Gen. Gregory Mugisha Muntu, atabukidde abapoliisi abamulemesezza okukuba olukung’aana.
Okusinziira ku Mugisha Muntu, ekifo w’abadde alina okukuba olukung’aana mu ggombolola y’e Biguli e Kamwenge kyayonooneddwa enkuba eyakedde okufudeeba n’asalawo okukozesa ekifo ekirala ekiriraanyeewo abapoliisi, kyebagaanye.
“Twakkiriziganyizza ne poliisi ku kifo kino, tewali yasuubidde nti enkuba enaatonya n’etulemesa okukituukako, naye n’oluvannyuma lw’okufuna ekifo ekirala mu mmita 100 zokka okuva wano era netukkaanya ne nnyini kyo, poliisi etulemesezza,” Muntu bwe yeewunyizza.
Muntu yagasseeko nti poliisi yeemu eno era etiisizatiisiza nannyini leediyo kw’abadde alina okwogerera n’emulemesa okubakyaza.
“Kye tubadde tufuba okulaba kwe kukola ekyo ekisaanidde ne mu mbeera ng’ebitongole bya gavumenti bigezaako okutunyigiriza. Twayogedde ne poliisi mu ngeri y’obugunjufu era nga tusuubira nti bajja kutulemesa naye ne tugaana okweyisa mu mbeera eyinza okuleetawo obukuubagano,” Muntu bwe yannyonnyodde.
Ono yagambye nti bakimanyi bulungi nti amateeka gali ku ludda lwabwe n’agamba nti tebalina kintu kyonna kye bagenda kukola kuvaako kuyiwa musaayi wadde nga poliisi ebasindiikiriza kubanga ennaku za gavumenti eno ziweddeyo.