
Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina ki Alliance for National Transformation(ANT) Gen Mugisha Muntu, asabye omuduumizi w’amagye g’oku ttaka Lt Gen Muhoozi Kainerugaba era mutabani wa Pulezidenti Museveni, awummule amagye bwaba ayagala okusigaza ekitibwa kye olwo ayingire eby’obufuzi.
Muntu okwogera bino abadde ayogerako eri bannamawulire ku bubaga bwa Gen. Muhoozi obutambuzibwa mu bitundu by’eggwanga n’obubaka obulaga nti agenda kwesimbawo mu 2026, Muntu amulabudde okutazannyira ku magye kuba gabatwalidde ebbanga okuzimba.
“Njagala okusaba Omuduumizi w’amagye g’oku ttaka okuwummula amagye okutwala eby’obufuzi bye mu maaso. Wadde alina eddembe okukola kino naye ate yunifoomu y’amagye erina okusigaza ekitiibwa kyaayo,” Gen. Muntu bwe yannyonnyodde.
Kino kiddiridde Gen. Muhoozi okutegeka obubaga obumuyozaayoza okuweza emyaka 48 mu bitundu eby’enjawulo nga obubaga obukulu bwali Kololo ne mu maka g’Obwapulezidenti.
Abakugu bagamba nti ebikujjuko bino byagendereddwamu okutongoza ‘Muhoozi Project’ bannayuganda gyebaludde nga boogerako nga Museveni ayagala mutabani we Muhoozi yaba amusikira ku bwapulezidenti.
Okusinziira ku Muntu eggye lya NRA/ UPDF lyazimbibwa mu kwelekereza nokuyiwa omusaayi nga teryetaaga kutambuzibwa mu ngeri Muhoozi gyakolamu ebintu.
“Tukwaniriza mu by’obufuzi naye sooka oyambulemu Yunifoomu yaffe,” Muntu bwe yakaatiriza.
Abamu ku batunuulizi b’ensonga bagamba ekya Muhoozi okulangirira nga bwajja okuvuganya ku bwapulezidenti mu 2026 kikontana ne ssemateeka awamu n’etteeka erifuga eggye lya UPDF ekigaana abajaasi okwenyigira mu by’obufuzi ebyawulayawula mu bantu.
Bino webijjidde nga , Gawaya Tegulle yaddukidde mu kkooti etaputa ssemateeka nga asaba erung’amye ku nsonga eno eya Muhoozi okwenyigira mu by’obufuzi ate nga akyali mu magye.









