Bya Ssemakula John
Kisasi – Kampala
Minisita w’ebyenguudo era munnamagye Gen. Katumba Wamala akubiddwa amasasi e Kisota – Kisasi mu Kampala n’asimattuka n’ebisago ebyamaanyi.
Okusinziira ku babaddewo, abatemu bano bazze bagoberera emmotoka ya Gen. Katumba Wamala nnamba H4DF 2138 ne batandika okugisisira amasasi.
Mu mmotoka Gen. Katumba Wamala abaddemu ne muwala we era kigambibwa nti ono afiiriddewo awamu ne ddereeva.
Gen Katumba alabiddwako ng’avaamu omusaayi mu mukono gwe ogwa kkono ne mu kifuba era we tukoledde eggulire lino abadde addusiddwa mu ddwaliro lya Malcom Clinic waggyiddwa n’ayongerwayo mu ddwaliro lya Nakasero Hospital.
Ebisosonkole by’amasasi birabiddwako mu kifo kino nga biwerako ekiraze nti bano bakubye ku masasi agawerako.
Abatemu olumaze bino abatuuze bagamba nti bakutte ku nkulungo y’e Kisasi. Poliisi esuubirwa okwogerako eri bannamawulire gye bujjako ku nsonga eno.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire akakasizza enjega eno naye n’asuubizza okutegeeza eggwanga ebisingawo.