Bya Stephen Kulubasi
Bulange Mmengo
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nguudo n’ebyentambula mu gavumenti yaawakati, Gen.Katumba Wamala, akunze abantu okuvaayo bagabe omusaayi okusobola okulwanyisa ebbula ly’omusaayi mu ggwanga.
Gen. Katumba okusaba kuno akukoledde mu Bulange e Mmengo olwaleero bw’abadde yeetabye mu nteekateeka y’okugaba omusaayi. “Kino tekirinaako ani oba ani naye ffenna tusitukire wamu okulaba nti tuyambagana ku bannaffe ababa bafunye obwetaavu bw’omusaayi.” Gen. Wamala bw’agambye.
Mu nteekateeka ya leero, Gen. Katumba, y’abadde omugabi w’omusaayi omukulu era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Katikkiro Mayiga mu kwogera kwe alaze ebika by’abantu abasinga okwetaaga omusaayi guno omuli; abakyala abali embuto, abagudde ku kabenje wamu n’abalwadde ba Nnalubiri.
“Omusaayi tolina w’oyinza kuguggya kubanga tegugulwa, tegukolererwa mu kkolero naye Katonda bw’aba akuwadde obulamu, ggwe olina okuguwaayo eri oyo agwetaaga.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza ng’ayaniriza Gen. Katumba Wamala.
Owek. Mayiga agamba nti ebizuuliddwa biraga nti abantu 20 ku 100 be bafa olw’ebbula ly’omusaayi era n’akunga abantu okujjumbira enteekateeka eno.
Mukuumaddamula ajjukizza abantu nti tewali amanya ndi lw’ayinza kwetaaga musaayi, n’abasaba okuwaayo buli lwe wabeerawo enteekateeka ng’eno.
Katikkiro yeebazizza Gen. Katumba olw’okudduukirira omulanga guno n’asaba bakulembeze banne nabo bakole ky’ekimu. Olwaleero lwe lunaku Olwokubiri nga bannayuganda bagaba omusaayi wamu n’okugemebwa ekirwadde kya Hepatitis ‘B’ era ng’enteekateeka eno ekyagendera ddala my maaso okutuuka ku Lwokuna lwa wiiki eno.