Kampala
Abantu b’Omusinga bwe Rwenzururu batandise okufuna ku kamwenyumwenyu oluvannyuma lw’okufuna amawulire nga gavumenti bw’egenda okuyimbula abamu ku bambowa abaali bakuuma Omusinga abaakwatibwa mu 2016.
Okusinziira ku mukutu gwa URN, gavumenti ekkiriza okuyimbula abamu ku bambowa, kiyambeko okuzza emirembe mu kitundu kino.
Ssaabaminisita wa Rwenzururu omuggya, Joseph Kule Muranga, akakasizza nga gavumenti bwe yeetegese okuyimbula abakuumi 147 era nga kino kyatuukiddwako oluvannyuma lw’enteeseganya ze baabadde ne gavumenti.
Muranga agamba nti ng’Obusinga bakirabye nti kikulu okukwatagana ne gavumenti ensonga zino ziggweere wabweru wa kkooti.
Ono agasseeko nga gavumenti bw’egenda okugulira Omusinga yiika z’ettaka ttaano mu Kasese azimbeko olubiri lwe era nga bakyayogeraganya okulaba ng’Omusinga adda mu lubiri lwe alamule abantu be.
Omwogezi wa gavument, Ofwono Opondo, akakasizza nga bwe bali muteeseganya okulaba ng’ekitundu kino kitebenkera.
” Kituufu waliwo enteeseganya ezigenda mu maaso ku njuyi zombi era ekyo kyennyinza okubagamba kati.” Opondo bw’agambye.
Bano baakwatibwa amagye bwe gaali galumbye olubiri lw’Obusunga bwa Rwenzururu nga 27/ 11/2016 era ng’obukuubagano buno bwafiiramu abantu abaasoba mu kikumi.
Mu lulumba luno, Omusinga Charles Wesley Mumbere, yakwatibwa wamu n’abakuumi be 200 era nebasimbibwa mu kkooti. Bano baavunaanibwa emisango okuli; obutujju, okulya mu nsi olukwe, obutemu, okwagala okutta abantu, obubbi n’emisango emirala.
Abakuumi baasindikibwa ku alimanda gye babadde bakyali n’okutuuka olwa leero, wadde nga Mumbere n’abamu ku bakungu be baayimbulwa ku kakalu ka kkooti.