Musasi Waffe
Olwaleero Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga alangiridde nti gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka eggaddewo woofiisi zaayo olw’okwetangira ekirwadde kya senyiga omukambwe owa COVID-19.
Oweek. Mayiga agambye nti okuva olwaleero paka nga Apuli 14 oba okusinziira ku biragiro bya gavumenti byenaaba ewadde naddala ku bikwata ku ntambula y’olukale, abakozi bonna baakusigala ewaka.
“Nga April 14 tujja kuzza ekitundu ky’abakozi abalina obuvunanyizibwa obutalekeka. Abakozi abalala bajja kumalako ennaku 32 pulezidenti zeyalangirira eziwera embaga, ennyimbe, okugenda mu masizizo,” Mayiga bwagambye.
Agasseeko nti singa gavumenti ennaku 32 ziggwako nezongezaayo, abakozi bajja kusigalayo okutuusa ekiragiro ekyo bwekinnagwayo.
“Nga Apuli 14 ba minisita bajja kusigalayo n’abakozi abatonotono. Ebitongole byaffe byonna twabigambye bikole okuteteenkanya okusobola okuvvunuka akatyabaga kano,” Mayiga bwagambye.
Obwakabaka bulina ebitongole 17 okugeza CBS leediyo, BBS Terefayina, Buganda Land Board, Muteesa I Royal University n’ebirala.
Katikkiro era ayongeddeko n’abakozi n’abagumya nti embeera eno bwenaggwo, bonna bajja kuzzibwa ku mirimu gyabwe.