Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti eya wakati ezzeemu okuwera okukola, okukozesa wamu n’okuyingiza mu ggwanga obuveera, okusobola okutaasa obutonde bw’ensi.
Bino byayogeddwa Minisita omubeezi ow’obutonde bw’ensi Beatrice Anywar, mu lukung’aana lwa bannamwulire olwatudde ku Lwokubiri ku Media Center mu Kampala era ekiragiro kino kyatandikiddewo okukola.
“Okukola, okuyingiza, n’okukozesa obuveera mu ggwanga Uganda kuwereddwa,” Anywar bwe yagambye.
Guno gwe mulundi ogw’okubiri nga gavumenti ewera obuveera mu Uganda.
Mu July 2009, gavumenti ng’eyita mu Palamenti yateeka ekkoligo ku kukozesa obuveera mu ggwanga okutaasa obutonde wabula tekyakola.
Okusinziira ku Palamenti, obuveera bwonna obwali wansi wa ‘30 microns’ nga guno gwe mubiri oba obunene bw’akaveera kuba bwali bumenya mateeka era ababukola nebalagirwa obutaddamu kubufulumya.
Gavumenti era yateeka omusolo gwa bitundu 120 ku buli 100 ku bintu ebirala ebya Pulaasitiki era bannansi baweebwa ebbanga lya myezi 6 okusobola okuzuula byebasobola okukozesa ebitakontana na butonde.
Abakulu balaga nti obuveera bwebusinze okuzibikira emyala wamu n’okukaddiya ettaka era wano wewava okuwera obuveera wabula tekyakola.
Mu ngeri yeemu mu 2015, NEMA nga egezaako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo, yawera okutunda, okukozesa n’okukola awamu n’okuyingiza obuveera mu ggwanga wabula era nekitakola era gavumenti nesooka eyimiriza ku kiragiro ekyali kiwera obuveera era neteekawo akakiiko okwekeneenya ensonga eno.
Minisita Anywar ategeezezza bannamawulire nti ku mulundi guno gavumenti egenda kubeera nkambwe nnyo ng’eteeka ebiragiro mu nkola era nasaba abantu okunoonya kyebasobola okukozesa.
Mu biragiro ebirala, gavumenti eragidde abantu bonna abeesenza mu ntobazi, mu bibbira bya gavumenti, embalama z’ennyanja wamu n’emigga okusengulwa. Anywar agamba nti abo abeensenza mu ntobazi mu bitundu by’ebyalo bagenda kulaba engeri gyebabafunira webadda.