Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabaminisita w’eggwanga era nga y’akulira entambuza y’emirimu gya gavumenti mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, Dr. Ruhakana Rugunda, awandiikidde Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga ku lwa gavumenti, ng’asaba atuuze akakiiko akafuzi aka Palamenti, kasobole okwongerayo okulonda kwa Sipiika awamu n’omumyuka we.
Okusinziira ku mitendera, okulondebwa kwa Sipiika n’omumyuka we bye bimu ku bintu ebirina okusooka okukolebwa oluvannyuma lw’ababaka okulayira, ababaka mu Palamenti y’e 11 balina kulayira nga 17 ne 18 Omwezi guno.
Ebbaluwa Ssaabaminisita gye yawandiikidde Sipiika Kadaga nga 4, omwezi guno, eyagala okulonda kuno kwongezebweyo okutuuka nga 21 omwezi gwe gumu.
Rugunda yategeezezza nti ebibiina ebirina ababaka mu Palamenti ye 11 byetaaga okutuuza obubondo bwabyo okusalawo ku bantu be birina okusimbawo ku bwasipiika wamu n’omumyuka we nga noolwekyo byetaagayo akadde.
Ebiriwo biraga nti abantu bana bokka be balaze nti beetaaga okuvuganya ku kifo kya Sipiika ekirimu Rebecca Kadaga essaawa eno era y’omu ku bali mu lwokaano. Abalala ye mumyuka we Jacob Oulanyah, omubaka omukyala owa Rakai, Juliet Kinyamatama nga bano bonna ba NRM awamu n’owa FDC, Ssemujju Nganda.
Ate bo abaagala eky’omumyuka bawerako nga ku bano kuliko; Omubaka wa Lwemiyaga, Theodore Ssekikubo, Anita Among (Bukedea woman), Jacob Oboth Oboth (West Budama ), Thomas Tayebwa (Ruhinda North) ne David Bahati (Ndorwa West).