Gavumenti ng’eyitira mu minisita avunanyizibwa ku magana Bright Rwamirama eweze abantu okugulira ennyama mu buveera.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti mu ggwanga erimanyiddwa nga Uganda Media Centre, Rwamirama agambye nti kino bakikoze okugezaako kwetangira kawuka ka coronavirus okukwata abantu.
“Omuntu bwanaaba nga agenda ku mudaala okugula ennyama, alina okugenda ne wagenda okugitwalira,” Rwamirama bwagambye.
Ayongeddeko nti omudala gwa nnyama gulina okubamu n’abantu babiri ng’omu akwata essente ate omulala n’atema.
Mu mateeka amalala gavumenti era eganye abantu okusala ebisolo ebirabika nga birwadde.
Abakinjaaji balina okunaaba mungalo n’essabbuni oba ne sanitayiza buli webakwata ku nsolo.
Obutale bw’enste nabo bwawerebwa ng’era omuguzi alina kugenda ku faamu butereevu.
Minisita era agambye nit ebitundu ebirimu kalusu nabyo tebikkirizibwa kugulamu oba kutambulizaamu nte.
Ddisitulikiti 51 mu kaseera kano zezirimu kalusu.