Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti ewaddeyo obuwumbi 9 okuddaabiriza enguudo eziri mu mbeera embi mu kibuga Kampala kisobozese okwanguya entambula wamu n’okukendeeza ku kalippagano k’ebidduka.
Kino kyabikuddwa Minisita wa Kampala, Betty Amongi mu lukung’aana lwa bannamawulire n’ategeeza nti kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okuvaayo ne beemulugunya ku mbeera z’enguudo mu Kampala naddala ku nsonga y’ebinnya.
Minisita Amongi agamba nti ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) kigenda kutandika okukola enguudo mu divizoni za Kampala ez’enjawulo.
E Kawempe enguudo zino ziri 8 ez’okuddaabirizibwa, Lubaga ziri 10, Nakawa 7, Makindye 9 ate mu Kampala Central ziri 9 era kino kyakukolebwa mu bbanga lya myezi 2 gyokka.
Amongi era yannyonnyodde nti Pulezidenti Museveni alagidde ekitongole kya KCCA okutegeka enteekateeka ey’ekiseera ekiwerako gavumenti esobole okuteekamu ssente era ng’eno yaakwanjulirwa Kabineeti mu maaso awo.
Bino we bijjidde nga kumpi enguudo zonna mu Kampala n’emiriraano zijjudde ebinnya era ng’abakulira KCCA kino babadde bakiteeka ku nsimbi entono ezibaweebwa okuddukanya emirimu gy’ekibuga.