Bya Musasi Waffe
Gavumenti ya Uganda ng’eyitira mu muwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule y’ensonga z’ebweru, Ambasada Patrick Mugoya, evumiridde ekyokuttibwa kwa Bannayuganda babiri amagye ge Rwanda. Ebbaluwa y’okwemulugunya yakwasiddwa omubaka wa Rwanda mu Uganda, Frank Mugambage.
Mukiwandiiko ekyateekeddwako omukono gwa Ofwono Opondo, omwogezi wa gavumenti ya Uganda, okuttibwa kw’abantu ku nsalo ne Rwanda kigenda ku kkaluubiriza nnyo okuzza enkolagana wakati wamawanga g’ombi.
Ku Sande nga 10 Musenene, Bannayuganda babiri Job Byarushanga omutuuze wa Kiruhura Cell mu gombolola ya Kamwezi mu disitulikiti ya Rukiga wamu ne Bosco Tuhirirwe omutuuze wa Kabira Cell mu gombolola ya Kamwezi mu disitulikiti ya Rukiga battibwa amagye ga Rwanda oluvanyuma lw’okuteeberezebwa okwenyigira mu magendo.
“Gavumenti ya Uagnda ewakanya ne ssekuwakanya yenna okuttibwa kw’abantu baayo…Omusango ogwabasizza mutono nnyo kubanga baabadde tebalina mmundu,” ekiwandiiko kya Opondo bwekyateegezza.