
Bya Francis Ndugwa
Bulange – M’mengo
Minisita w’ebyettaka n’obutonde bw’ensi mu Buganda, Owek. Hajjati Mariam Nkalubo Mayanja asabye gavumenti emalewo ekizibu ky’ebbula ly’emirimu kiyambeko okukendeeza ku misinde abantu gye basaanyizaawo obutonde nga beekwasa obwavu.
Okusaba kuno Owek. Nkalubo akukoledde mu nsisinkano gy’abaddemu n’ekitongole ky’ebibira ne Minisitule y’amazzi mu Gavumenti eyaawakati nga babadde ku mbuga enkulu e Bulange -Mmengo nga bateesa ku nnongoosereza ezigenda okukolebwa mu tteeka ly’ebibira erya 2001 (Uganda Forest Policy 2001).
Kinajjukirwa nti mu mwaka oguwedde Gavumenti ya Kabaka yatta omukago ne Minisitule y’amazzi n’obutonde mu gavumenti eyaawakati okulaba engeri gye basobola okutaasaamu obutonde.
Owek. Nkalubo era asabye Gavumenti okwongera okumyumyula ku mateeka ku kutyoboola obutonde bw’ensi ky’agambye nti mpagi n nene mu lutalo lw’okukuuma obutonde eggwanga ligende mu maaso.
Ate Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, Owek. Martin Kaseekende asabye Gavumenti ekulembeze abakulembeze b’ennono n’obuwangwa kubanga bano bawulirwa nnyo abantu baabwe.
Amyuka Kamisona mu Minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi, Isa Katwesige agamba nti kino kye kiseera okukola ennongosereza essibwemu obuwaayiro obw’okutaasa obutonde okusinziira ku nsi nga bw’etambula .
Katwesige ategeezeza nti kaweefube w’okutaasa obutonde baakumutandika na kusimba miti n’okubangula bannayuganda ku bukulu bwabwo.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu ababaka mu Lukiiko lwa Buganda, bammeeya mu bitundu ebyenjawulo, abaami b’eggombolola ez’enjawulo n’abakungu abalala.









