Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyenjigiriza mu ggwanga esazizzaamu layisinsi z’amasomero g’obwannannyini wonna mu ggwanga n’eragira bannannyini masomero gano okuddamu okwewandiisa bafune layisinsi empya bwe baba baagala okuggulwawo ng’amasomero gazzeemu.
Kino kyalangiriddwa mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatudde ku Ssengejjero lya gavumenti ku Mmande, amyuka Kamisona w’amasomero g’obwannannyini mu Minisitule y’ebyenjigiriza, George Mutekanga n’akakasa nti kino gavumenti ekikoze okuggyamu amasomero agabadde gaggalawo edda.
“Tugezaako okuzza obuggya lijesita zaffe, tugenda kuggyamu amasomero agaggalawo edda era tugenda kugaba layisinsi empya.” Mutekanga bwe yagambye.
Okusinziira ku Mutekanga, enteekateeka eno egenda kutandikira Kampala ne Wakiso awamu n’ebitundu bya Buganda n’oluvannyuma etwalibwe mu bitundu by’eggwanga ebirala.
Wabula ekibiina ekigatta amasomero g’obwannannyini ekya ‘National Private Institutions Association’ kyagiwakanyizza nga kigamba nti mukadde kano gavumenti yandibadde enoonya bw’eyinza kuyamba ku masomero butaggalawo kuba agasinga bbanka zigenda kugatwala olw’amabanja so si kuddamu kugawandiisa.
Okusooka Minisitule y’ebyenjigiriza okusooka yali etegeezezza nga bw’etasobola kuggula masomero okutuusa ng’abasomesa n’abayizi abali waggulu w’emyaka 18 bamaze okugemwa era ng’abakulu bagamba nti enteekateeka eno bagitambuddeko kuba kati abasomesa abawera 264,000 bafunye ddoozi esooka ate 96,000 bamaze okufuna eyookubiri.
Minisitule yalaga nti eruubirira okugema abasomesa 550,000 nga Pulezidenti Museveni tannaggya masomero ku muggalo kwe gabadde okuva mu June 18, 2021.