Bya Arthur Kalumba
Okusoma okutandikirwako oba okuyitibwa okwa Nassale, y’enkola yokusomesa abaana abato abali wakati w’emyaka 3-6. Enteekateeka y’okusoma kuno eyitibwa Early Childhood Development. Omwana ayise mu kusoma kuno wano wasinziira okugenda mu Kibiina ekisooka.
Obudde buno, Gavumenti ekyabaga nnambika entongole ( curriculum) erina okugobererwa mu kusomesa abaana bano okulungamya amasomero ku biki omwana emyaka egyo byasaanidde okusoma.
Katikkiro wa Buganda Oweek Charles Peter Mayiga, asomoozezza abazadde okutwala okusoma okutandikirwako okwa Nassale nga kukulu mu kutumbula eby’enjigiriza by’eggwanga kubanga abaana bafuna omusingi ogwa namaddala mu kusoma n’okuwandiika.
Bino abitadde mu bubaka bwatisse Minisita w’enkulakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’enjigiriza, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ku mpaka z’okusoma ebigambo zi “Enjuba National Spelling Bee 2026” ez’omulundi ogw’e 14 eziyindidde ku Serena Hotel mu Kampala.
Minisita Choltilda Nakate nga Akwasa abawanguzi b’empaka za Spelling bee ebirabo.

Atenderezza gavumenti olw’okussaawo enkola ey’obuwaze eri abaana b’eggwanga okusoma Nassale era ekirowoozo kino kyassibwa mu nkola Obwakabaka bwa Buganda bwe bwatandika amasomero gano mu Masaza gonna.
Dr. Saphinah Mutumba Amyuka Kamisona w’eby’enjigiriza by’omutendera gwa Nassale mu minisitule y’eby’enjigiriza agambye kikulu ennimu enzaaliranwa okusoosowazibwa mu kusomesa abaana bano.
Dr Saphinah asomoozezza gavumenti okukwatirako amasomero okufuna ebikozesebwa mu kubangula amabujje gano.










