Bya Musasi Waffe
Omubaka wa Lubaga North Moses Kasibante agambye nti gavumenti esaanidde okusazaamu mbagirawo enkola y’okusolooza emisolo ku masomero g’obwannanyini nti kino kitataganya ebyenjigiriza. Asinzidde ku ssomero lya Bagimu Pre & Primary School e Nakabugo mu Wakiso nagamba nti emisolo nga income tax okukugiggya ku massomero naddala mu kiseera kino nga amasomero agalabirirwa gavumenti gakoobedde nunutindo.
Kasibante yategeezezza nti buvunanyizibwa bwa gavumenti okuyamba ku massomero mu kifo kyokugatunulira ng’ensulo z’ensimbi.
Yagasseeko nti ensangi zino amassomero g’obwanannyini gatunuliddwa nnyo okutendeka abakulembeze ab’omumaaso n’olwekyo gavumenti egawagire.
Ate akulira essomero lino Julie Kabengwa yategezezza nti okutendeka abayizi essomero lya Bagimu terikikomya mu bibiina wabula mu nnyimba gattako ebyemizanyo. Yategeezezza nti ku Bagimu Pre & Primary, abayizi bababawa ebibasoomooza basobole okwevumbula n’okwebereramu ekinabasobozesa okwanganga embeera zonna omuli eby’enfuna n’obukulembeze ob w’obwesimbu. Ku lwabazadde, Carolyne Masagazi yategeezezza nti abazadde bateekwa okubangula abayizi mu mbeera zonna omuli enneyisa ennungi n’eddiini
Omukolo gwetabiddwako abakungu b’ebyanjigiriza okuva mu disitulikiti ye Wakiso abazadde n’abakulembeze ab’enjawulo.