• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyenjigiriza

Gavumenti eragidde abatasomesa Saayansi okudda mu bibiina oba balekulire

Gambuuze by Gambuuze
June 22, 2022
in Ebyenjigiriza
0 0
0
Gavumenti eragidde abatasomesa Saayansi okudda mu bibiina oba balekulire
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Gavumenti eragidde abasomesa bonna abaatadde ebikola wansi nebeediima okudda mu bibiina oba sikyo balekulirire emirimu gyabwe.

Kino kiddiridde abasomesa nga bayita mu kibiina ekibataba ki ‘Uganda National Teachers Union (UNATU),’ okwekalakaasa nebagaana okusomesa nga bawakanya kyebayita obusosoze oluvannyuma lwa gavumenti okwongeza abasomesa amasomo ga Saayansi (Sciences) awatali kufaayo ku basomesa amasomo agatali ga Saayansi (Arts).

Wadde gavumenti yagezezaako nnyo okwogereza abasomesa okudda mu bibiina naye bano beeremye nga bagamba nti basusse obutafiibwako.

Mu bbaluwa Ssaabawandiisi wa UNATU, Minisita avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti, Catherine Birakwate agambye nti gavumenti neetegefu okwongeza emisaala gy’abasomesa bonna awatali kufaayo ku byebasomesa naye essaawa eno tebasobola kukikola ku bonna kuba ssente eziriwo tezimala.

“ Ekyokusooka okwongeza abasomesa basaayansi kyesigamizibwa ku ssente ezaaliwo, omuwendo gwabwe awamu n’engeri gyebasobola okuyambako okuleetawo enkulaakulana y’eggwanga. Ffenna tukaanya nti twetaaga okusomesa abantu baffe bonna naye enkizo tulina giwa Saayansi kuba basobola okutuwa obukugu obwetaagibwa mu kiseera kino,” Birakwate bw’agambye.

Ono asabye abasomesa amasomo agatali ga Saayansi okulindako kuba ssente eziriwo mu kiseera kino zisobola kukola ku basomesa Saayansi. Birakwate agambye nti wadde kiri mu mateeka okwekalakaasa naye akeediimo abasomesa bano kebalimu tekeesigamiziddwa ku tteeka lyonna.

Minisita Birakwate ategeezezza nti bafunye alipoota bga amasomero agamu bwegaggaddwa okusobozesa abasomesa okwetaba mu keediimo kano nalabula nti embeera eno tebajja kugikkiriza nga gavumenti.

Bino webijjidde nga Pulezidenti Yoweri Museveni yakamala okusisisnkana Minisita w’ebyenjigiriza, Minisita w’ebyensimbi, owabakozi, Ssaabaminisita wamu n’omumyuka we ku kirina okukolebwa ku nsonga eno.

Ensonda ezeesigika zigamba nti Pulezidenti alagidde abasomesa okudda mu bibiina nga gavumenti bwenoonya gyegenda okujja ssente okubongera omusaala naye nategeeza nti akooye okukolagana n’abantu abatalina mwoyo gwa ggwanga.

Gavumenti yawaayo obuwumbi 735 okwongeza omusaala gw’abakola emirimu gya Saayansi omuli n’abasomesa era ensimbi zino zarinyisa abasomesa  mu masomero ga gavumenti okuva ku mitwalo 70 ne 90 nebatuuka ku bukadde 3.

Abalina ddiguli bava ku kakadde akamu n’emitwalo 40 nga kati buli omu agenda kuweebwa obukadde 4 ekintu ekyatabudde abasomesa amasomo amalala nga bagamba nti gavumenti eno ebasosola.

Share this:

Tags: 'Catherine BirakwatePresidenti Yoweri MuseveniUganda National Teachers Union (UNATU)
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.